Add parallel Print Page Options

17 (A)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.

Read full chapter

15 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
    omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
    “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
    okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
    era n’ogw’abo ababoneredde.

Read full chapter

Ebikulu Katonda bye Yeetaaga

12 (A)Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, 13 n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?

Read full chapter

22 (A)Naye Samwiri n’amugamba nti,

Mukama asanyukira nnyo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka,
    okusinga okugondera eddoboozi lya Mukama?
Okugonda kusinga ssaddaaka,
    era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume.

Read full chapter

(A)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

Read full chapter