Add parallel Print Page Options

(A)Baali bayimba oluyimba lwa Musa omuddu wa Katonda, n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga nga lugamba nti,

“Ebikolwa byo bikulu era bya kyewuunyo,
    ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna.
Amakubo go matukuvu era ga mazima,
    ayi ggwe Kabaka w’amawanga.

Read full chapter

(A)Ani ataakutye Ayi Mukama,
    n’atagulumiza linnya lyo?
Ggwe wekka gwe Mutukuvu,
amawanga gonna galijja
    ne gasinziza mu maaso go,
Kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”

Read full chapter

Okulamusa n’Okutendereza Mukama

(A)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.

Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:4 Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa