Add parallel Print Page Options

17 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (B)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”

19 (C)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”

20 (D)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.

Read full chapter