M’Cheyne Bible Reading Plan
Abayisirayiri Babonyaabonyezebwa
1 (A)Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:
2 Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,
3 ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,
4 ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.
5 (B)Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu[a]; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.
6 (C)Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. 7 (D)Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
8 Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9 (E)N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 10 (F)Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
11 (G)Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 13 (H)Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 14 (I)Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
Falaawo Awa Abazaalisa Ekiragiro
15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa[b], n’abagamba nti, 16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 17 (J)Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
19 (K)Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
20 (L)Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21 (M)Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
22 (N)Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
Okukemebwa kwa Yesu
4 (A)Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu, 2 (B)n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.
3 Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”
5 (D)Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 (E)Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 (F)Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”
9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,
“ ‘Katonda aliragira bamalayika be
bakukuume.
11 (G)Era balikuwanirira mu mikono gyabwe,
oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”
12 (H)Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13 (I)Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
Yesu Atandika Omulimu gwe mu Ggaliraaya
14 (J)Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo. 15 (K)N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16 (L)Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 (M)“Omwoyo wa Mukama ali ku nze.
Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.
Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,
n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,
n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 (N)n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 (O)N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 (P)Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 (Q)Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 (R)Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 (S)Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 (T)Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 (U)Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge[a] bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 (V)ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 (W)Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
Yesu Agoba Dayimooni
31 (X)Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti. 32 (Y)Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.
33 Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti, 34 (Z)“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35 (AA)Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
36 (AB)Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” 37 (AC)Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
Yesu Awonya Abalwadde Bangi
38 Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe. 39 (AD)Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!
40 (AE)Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya. 41 (AF)Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.
42 Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako. 43 (AG)Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.” 44 (AH)Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.
Birudaadi Ayanukula
18 Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2 “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo?
Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3 (A)Lwaki tutwalibwa ng’ente
era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4 (B)Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu,
abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5 (C)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6 Ekitangaala kivudde mu weema ye;
n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7 (D)Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi,
era enkwe ze, ze zimusuula.
8 (E)Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba
era n’atangatanga mu butimba.
9 Omutego gumukwata ekisinziiro;
akamasu ne kamunyweeza.
10 Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka;
akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11 (F)Entiisa emukanga enjuuyi zonna
era n’emugoba kigere ku kigere.
12 (G)Emitawaana gimwesunga;
ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13 (H)Kirya ebitundu by’olususu lwe;
omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14 (I)Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye
era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15 (J)Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye;
ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16 (K)Emirandira gye gikala wansi,
n’amatabi ge gakala waggulu.
17 (L)Ekijjukizo kye kibula ku nsi;
talina linnya mu nsi.
18 (M)Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza
n’aggyibwa mu nsi.
19 (N)Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,
newaakubadde ekifo mwabeera.
20 (O)Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako;
n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21 (P)Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi;
bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Okugoba owooluganda ow’empisa embi
5 (A)Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. 2 (B)Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe? 3 (C)Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga. 4 Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe. 5 (D)Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
6 (E)Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 7 (F)Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe. 8 (G)Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.
9 (H)Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 10 (I)so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 11 (J)Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
12 (K)Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 13 (L)Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.