M’Cheyne Bible Reading Plan
50 (A)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera. 2 (B)Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo, okukalirira omulambo gwa kitaawe. Bwe batyo abasawo ne bakalirira omulambo gwa Isirayiri; 3 (C)baali beetaaga ennaku amakumi ana okukoleramu ekyo. Ezo ze nnaku ezakaliririrwangamu emirambo. Abamisiri ne bakungubagira Yakobo okumala ennaku nsanvu.
4 Awo ennaku ez’okukungubagiramu Yakobo bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ennyumba ya Falaawo, n’agamba nti, “Obanga ndabye ekisa mu maaso gammwe munjogerereyo ewa Falaawo. Mumugambe nti, 5 (D)‘Kitange yandayiza ng’agamba nti, “Nnaatera okufa; mu ntaana yange gye nesimira mu nsi ya Kanani, omwo mw’onziikanga.” Kale kaakano mbasaba mundeke ŋŋende nziike kitange; oluvannyuma nkomewo.’ ”
6 Falaawo n’addamu nti, “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”
7 Awo Yusufu n’ayambuka wamu n’abaweereza ba Falaawo bonna, n’abakulu b’ennyumba ye, n’abakulu ba Misiri bonna, 8 n’ab’ennyumba ya Yusufu, ne baganda be, n’ab’ennyumba ya kitaawe. Abaana bokka be baasigala mu Goseni n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. 9 N’agenda n’amagaali n’abeebagala embalaasi era ekibiina kyali kinene nnyo.
10 (E)Bwe baatuuka ku gguuliro lya Atadi ng’osomose Yoludaani, ne bakungubaga okukungubaga okutagambika okujjudde ennaku; Yusufu n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu. 11 Abantu ab’omu nsi, Abakanani, bwe baalaba okukungubaga mu gguuliro lya Atadi ne bagamba nti, “Okukungubaga kuno kwa ntiisa eri Abamisiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Aberumizirayimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12 Bwe batyo batabani ba Yakobo ne bakola nga bwe yabalagira. 13 (F)Baamwetikka ne bamutuusa mu Kanani, ne bamuziika mu mpuku eyali mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, Ibulayimu gye yagula okuva ku Efulooni Omukiiti, aziikengamu abantu be. 14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe n’addayo e Misiri wamu ne baganda be ne bonna abaayambuka naye okuziika kitaawe.
15 (G)Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti, “Osanga Yusufu ajja kutukyawa yeesasuze olw’ebibi byonna bye twamukola.” 16 Kyebaava bamutumira nga bagamba nti, “Kitaawo bwe yali tannafa yatulagira nti 17 tugambanga Yusufu nti, ‘Nkusaba osonyiwe baganda bo bye bakusobya n’ekibi kyabwe, kubanga baasobya nnyo gy’oli.’ Kale nno kaakano tukusaba osonyiwe okusobya kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baakimugamba n’akaaba.
18 (H)Baganda be ne bagenda gy’ali ne beeyala mu maaso ge ne bagamba nti, “Laba, tuli baddu bo.” 19 (I)Naye Yusufu n’abagamba nti, “Temutya, nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 (J)Mwagenderera okunnumya, naye Katonda n’akifuula ekirungi, n’akikozesa abantu baleme okufa. 21 (K)Noolwekyo temutya, nzija kubaliisa mmwe n’abaana bammwe.” Bw’atyo n’abagumya n’abazaamu amaanyi.
Okufa kwa Yusufu
22 (L)Awo Yusufu n’abeera mu Misiri, ye n’ennyumba ya kitaawe. N’awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 (M)N’alaba abaana ba Efulayimu, abazzukulu ab’omugigi ogwokusatu. Era n’alaba n’aba Makiri mutabani wa Manase abaazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24 (N)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.” 25 (O)Awo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti, “Katonda alibakyalira, nammwe mulinyisanga amagumba gange okugaggya wano.”
26 (P)Bw’atyo Yusufu n’afa, ng’alina emyaka kikumi mu kkumi; ne bakalirira omulambo gwe n’ateekebwa mu ssanduuko mu Misiri.
Yokaana Omubatiza alongoosa ekkubo
3 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, 2 (B)Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. 3 (C)Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
6 (D)Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7 (E)Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 (F)Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 9 (G)Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10 (H)Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11 (I)Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12 (J)Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13 (K)Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14 (L)Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”
Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
15 (M)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (N)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (O)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
19 (P)Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 (Q)ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
Okubatizibwa kwa Yesu
21 (R)Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 (S)Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
Olulyo lwa Yesu
23 (T)Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:
ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24 Eri nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,
25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,
ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,
ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi,
ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,
ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,
27 (U)ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,
ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,
ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28 ne Neeri nga mwana wa Mereki,
ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,
ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,
29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,
ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,
ne Mattati nga mwana wa Leevi,
30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,
ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,
ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,
31 (V)ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,
ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,
ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32 ne Dawudi nga mwana wa Yese,
ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,
ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,
33 (W)ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,
ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,
ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 34 (X)ne Yuda nga mwana wa Yakobo,
ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,
ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,
35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,
ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,
ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 (Y)ne Sera nga mwana wa Kayinaani,
ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,
ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,
37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,
ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,
ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 38 (Z)ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,
ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,
ne Adamu nga mwana wa Katonda.
Yobu Ayanukula
16 Yobu n’addamu nti,
2 (A)“Mpulidde ebintu bingi ebiri nga bino;
mwenna muli mikwano gyange egitagasa.
3 (B)Ebigambo byammwe bingi, tebiikome?
Kiki ekibaluma ne mutalekeraawo kuwakana?
4 (C)Nange nandyogedde nga mmwe, singa mmwe mubadde mu kifo kyange;
nandyogedde ebigambo ebisengeke obulungi ebibanyiga, ne mbanyeenyeza n’omutwe[a] gwange.
5 Naye akamwa kange kandibazizzaamu amaanyi;
ebigambo eby’essuubi okuva mu kamwa kange byandibaleetedde eddembe.
6 “Ate bwe njogera, obulumi bwange tebuwona,
bwe nsirika era busigalawo.
7 (D)Mazima ddala, Ayi Katonda, ommazeemu amaanyi;
osaanyiririzzaawo ddala ennyumba yange yonna.
8 (E)Onsibye n’onyweza ekinnumiririza ddala,
obukovvu bwange bwe bukulaga bwe ndi, kirabika ne ku maaso.
9 (F)Katonda annumba n’obusungu bwe n’anjuzaayuza,
annumira emba;
omulabe wange antunuulira nkaliriza n’amaaso ge agafumita.
10 (G)Abantu bayasamya emimwa gyabwe ne bansekerera;
bankuŋŋaanirako ne bankuba empi ku matama.
11 (H)Katonda ampaddeyo eri omukozi w’ebibi,
era n’ansuula mu mikono gy’ababi.
12 (I)Nnali bulungi, n’anjuzaamu wakati;
yankwata ku nsingo n’ammenyamu.
Anfudde ssabbaawa,
13 (J)abakubi b’obusaale banneetoolodde.
Awatali kusaasira, afumita ensigo zange,
omususa gwange ne guyiika ku ttaka.
14 (K)Annumba, emirundi n’emirundi,
n’anfubutukirako ng’omulwanyi omuzira.
15 (L)“Neetungidde ebikutiya eby’okukungubagiramu,
ne nkweka obwenyi bwange mu nfuufu.
16 Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 (M)newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.
18 (N)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
19 (O)Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 (P)Mikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 (Q)Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
22 (R)“Emyaka mitono eginaayitawo
nga sinnakwata lugendo olw’obutadda.”
17 (S)Omutima gwange gwennyise,
ennaku zange zisalibbwaako,
entaana enninze.
2 (T)Ddala abansekerera bannetoolodde;
amaaso gange gabeekengera.
3 (U)“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba.
Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4 Ozibye emitima gyabwe obutategeera;
noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5 (V)Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera
alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6 (W)“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu,
anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7 (X)Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala;
omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8 (Y)Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino;
atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9 (Z)Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe,
n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10 (AA)“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje,
naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11 (AB)Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese,
era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12 Abantu bano ekiro bakifuula emisana;
mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13 (AC)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (AD)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (AE)kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 (AF)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Abatume ba Kristo
4 (A)Omuntu asaanidde atulabe ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda. 2 Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa. 3 Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olw’okusalirako omusango; nange sseesalira musango. 4 (B)Kubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe. 5 (C)Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.
6 (D)Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala. 7 (E)Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna? 8 (F)Mwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe. 9 (G)Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 10 (H)Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 11 (I)Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 12 (J)Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 13 (K)abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.
14 (L)Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 15 (M)Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 16 (N)Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze. 17 (O)Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.
18 Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti sigenda kujja gye muli. 19 (P)Naye nzija mangu, Mukama bw’anaasiima ndyoke mmanye amaanyi g’abo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo. 20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi. 21 (Q)Kiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.