M’Cheyne Bible Reading Plan
Okuzaalibwa kwa Musa
2 (A)Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi. 2 (B)Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3 Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. 4 (C)Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
5 (D)Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6 Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
7 Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” 8 Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9 Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Musa Addukira e Midiyaani
11 (E)Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12 Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 13 (F)Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 14 (G)Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
15 (H)Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;[a] n’atuula awali oluzzi. 16 (I)Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 17 (J)Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
18 (K)Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,[b] n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19 Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 20 (L)N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
21 (M)Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 22 (N)Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
23 (O)Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24 (P)Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. 25 (Q)Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
Abayigirizwa Abaasooka
5 (A)Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lw’ennyanja y’e Genesaleeti[a] ng’ayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda, 2 n’alengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi n’olukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe. 3 (B)Yesu n’alinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, n’amusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, n’alituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.
4 (C)Bwe yamala okuyigiriza n’agamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”
5 (D)Simooni n’addamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bw’otugambye, nzija kusuula obutimba.”
6 (E)Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika n’okukutuka. 7 Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula n’okusaanawo.
8 (F)Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, n’afukamira mu maaso ga Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.” 9 Kubanga obungi bw’ebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga, 10 (G)Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.
Yesu n’amuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.” 11 (H)Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.
Yesu Awonya Omusajja Omugenge
12 (I)Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu n’avuunama mu maaso ge, n’amwegayirira nti, “Mukama wange, bw’oba ng’oyagala, oyinza okunnongoosa.”
13 Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwatako, ng’agamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge by’omusajja ne bimuwonako.
14 (J)Yesu n’alagira omusajja nti, “Tobaako muntu n’omu gw’ogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olw’okulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”
15 (K)Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu ly’obuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. 16 (L)Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula n’alagako mu bifo eteri bantu, okusaba.
Yesu Awonya Akoozimbye
17 (M)Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo eky’e Ggaliraaya ne Buyudaaya era n’e Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya. 18 Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. 19 Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.
20 (N)Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
21 (O)Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
22 Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? 23 Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? 24 (P)Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” N’agamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.” 25 Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda. 26 (Q)Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”
Yesu Ayita Leevi
27 (R)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’avaayo n’alaba omusolooza w’omusolo, erinnya lye Leevi ng’atudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, n’amugamba nti, “Ngoberera.” 28 (S)Leevi n’aleka awo byonna, n’asitukiramu n’amugoberera.
29 (T)Awo Leevi n’afumbira Yesu ekijjulo eky’amaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne ab’omusolo bangi, n’abantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo. 30 (U)Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya, olw’abayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa n’abasolooza b’omusolo n’abalina ebibi?”
31 Yesu n’abaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde. 32 (V)Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”
33 (W)Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba n’okusaba. N’abayigirizwa b’Abafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”
34 (X)Naye Yesu n’abagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ng’awasizza omugole akyali nabo? 35 (Y)Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ng’abaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”
36 Awo Yesu n’abagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bw’akikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, n’ekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde. 37 Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ez’amaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike. 38 Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya. 39 Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”
Yobu Amuddamu
19 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Mulikomya ddi okunnyigiriza
ne mummenya n’ebigambo?
3 Emirundi kkumi nga munvuma;
temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 (A)Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 (B)Bwe muba munneegulumiririzaako
ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 (C)mumanye nga Katonda ankoze bubi
era anzingizza mu kitimba kye.
7 (D)“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 (E)Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 (F)Anziggyeeko ekitiibwa kyange
n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 (G)Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 (H)Obusungu bwe bumbubuukirako;
ambala ng’omu ku balabe be.
12 (I)Amaggye ge galumba n’amaanyi;
ganzimbako enkomera
ne gagumba okwetooloola weema yange.
13 (J)“Anziggyeeko baganda bange;
abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira,
wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 (K)N’obulenzi obuto bunsekerera;
buli lwe bundaba bunvuma.
19 (L)Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 (M)Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
nsigazzaawo bibuno byokka.
21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (N)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 (O)“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 (P)Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 (Q)Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 (R)nze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 (S)nammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
6 (A)Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? 2 (B)Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? 3 Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? 4 Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? 5 (C)Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? 6 (D)Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?
7 (E)N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 8 (F)Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya. 9 (G)Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,[a] 10 newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 11 (H)Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.
Ekibi eky’obwenzi
12 (I)Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 13 (J)Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 14 (K)Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 15 (L)Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 16 (M)Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 17 (N)Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18 (O)Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 19 (P)Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 20 (Q)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.