M’Cheyne Bible Reading Plan
Yusufu Annyonnyola Ebirooto
40 (A)Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. 2 (B)Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, 3 (C)n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. 4 (D)Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.
5 (E)Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. 6 Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. 7 (F)N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”
8 (G)Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”
9 Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10 Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11 Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”
12 (H)Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13 mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we. 14 (I)Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera. 15 (J)Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”
Ekirooto ky’Omukulu wa Bafumbi
16 Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu. 17 Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”
18 (K)Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 19 (L)bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.” 20 (M)Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi. 21 (N)Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo, 22 (O)kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.
23 (P)Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.
Enteekateeka ya Katonda ku Bufumbo
10 (A)Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.
2 (B)Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”
3 Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” 4 (C)Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”
5 (D)Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6 (E)Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. 7 Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. 8 (F)Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. 9 Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 11 (G)Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 12 (H)N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”
Yesu Awa Abaana Omukisa
13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14 (I)Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15 (J)Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 16 (K)Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
17 (L)Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
18 Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka. 19 (M)Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ” 20 N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”
21 (N)Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
23 (O)Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
24 (P)Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25 (Q)Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”
27 (R)Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
28 (S)Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”
29 Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, 30 (T)ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. 31 (U)Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”
Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe
32 (V)Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi. 33 (W)N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa. 34 (X)Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”
37 (Y)Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”
38 (Z)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
39 (AA)Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 43 (AB)naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 45 (AC)N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
Yesu Azibula Battimaayo Amaaso
46 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo. 47 (AD)Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
48 Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
49 Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!” 50 Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.
51 (AE)Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”
52 (AF)Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
Yobu Ayanukula
6 Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,
2 (A)“Singa okweraliikirira kwange,
n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
3 (B)Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
4 (C)Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
entiisa ya Katonda erwana nange.
5 Entulege ekaaba awali omuddo,
oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
6 Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
7 (D)Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
biri ng’emmere etangasa.
8 (E)“Singa Katonda ampa kye nsaba,
n’ampa kye nsuubira,
9 (F)yandisiimye okumbetenta
ne mmalibwawo omukono gwe.
10 (G)Kino kyandikkakkanyizza
obulumi obutakoma
kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 (H)Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 (I)Mu mazima sirina maanyi
n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 (J)Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 (K)ate ne kaggwaawo
buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 (L)Abatambuze b’e Teema banoonya,
bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 (M)Baalina essuubi
naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 (N)Kaakano bwe mundabye ne mutya
ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’?
24 (O)“Njigiriza nange n’aba musirise;
ndaga we nsobezza.
25 (P)Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 (Q)Mugezaako okugolola ebigambo byange,
ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 (R)Mukubira ne bamulekwa akalulu
ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.
10 Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 2 (A)Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 3 (B)Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 4 (C)Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.
5 (D)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” 6 (E)Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) 7 newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” 8 (F)Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. 9 (G)Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10 Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 11 (H)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 12 (I)Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 13 (J)Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14 Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 15 (K)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” 16 (L)Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” 17 (M)Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. 18 (N)Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,
“Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,
n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”
19 (O)Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:
“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga,
ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”
20 (P)Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,
“Nazuulibwa abo abatannoonya,
ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”
21 (Q)Naye eri Isirayiri agamba nti,
“Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange
eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.