Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 26

Okubala Abantu Okwokubiri

26 Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti, (A)“Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.” (B)Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti, “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”

Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:

(C)Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

abaava mu Kanoki, lwe lunyiriri lw’Abakanoki;

abaava mu Palu, lwe lunyiriri lw’Abapalu;

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;

abaava mu Kalumi, lwe lunyiriri lw’Abakalumi.

Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).

Mutabani wa Palu yali Eriyaabu, (D)ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda. 10 (E)Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu. 11 (F)Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.

12 (G)Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Nemweri, lwe lunyiriri lw’Abanemweri;

abaava mu Yamini, lwe lunyiriri lw’Abayamini;

abaava mu Yakini, lwe lunyiriri lw’Abayakini;

13 (H)abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera;

abaava mu Sawuli, lwe lunyiriri lw’Abasawuli.

14 (I)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).

15 (J)Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Zefoni, lwe lunyiriri lw’Abazefoni;

abaava mu Kagi, lwe lunyiriri lw’Abakagi;

abaava mu Suni, lwe lunyiriri lw’Abasuni;

16 abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni;

abaava mu Eri, lwe lunyiriri lw’Abaeri;

17 abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi;

abaava mu Aleri, lwe lunyiriri lw’Abaaleri.

18 (K)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

19 (L)Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.

20 (M)Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Seera, lwe lunyiriri lw’Abaseera;

abaava mu Pereezi, lwe lunyiriri lw’Abapereezi;

abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera.

21 (N)Bazzukulu ba Pereezi be bano:

abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni

abaava mu Kamuli, lwe lunyiriri lw’Abakamuli.

22 (O)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).

23 (P)Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Tola, lwe lunyiriri lw’Abatola;

abaava mu Puva, lwe lunyiriri lw’Abapuva;

24 (Q)abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu;

abaava mu Simuloni, lwe lunyiriri lw’Abasimuloni

25 (R)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).

26 Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Seredi, lwe lunyiriri lw’Abaseredi;

abaava mu Eroni, lwe lunyiriri lw’Abaeroni;

abaava mu Yaleeri, lwe lunyiriri lw’Abayaleeri.

27 (S)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).

28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.

29 (T)Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi.

Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.

30 (U)Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yezeeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri,

abaava mu Kereki, lwe lunyiriri lw’Abakereki;

31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,

abaava mu Sekemu, lwe lunyiriri lw’Abasekemu:

32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;

abaava mu Keferi, lwe lunyiriri lw’Abakeferi.

33 (V)Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

34 (W)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

35 Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Susera, lwe lunyiriri lw’Abasusera;

abaava mu Bekeri, lwe lunyiriri lw’Ababekeri;

abaava mu Takani, lwe lunyiriri lw’Abatakani.

36 Bano be bazzukulu ba Susera:

abaava mu Erani, lwe lunyiriri lw’Abaerani.

37 (X)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).

Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.

38 (Y)Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

abaava mu Bera, lwe lunyiriri lw’Ababera;

abaava mu Asuberi, lwe lunyiriri lw’Abasuberi

abaava mu Akiramu, lwe lunyiriri lw’Abakiramu

39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;

abaava mu Kufamu, lwe lunyiriri lw’Abakufamu.

40 (Z)Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Aluda, lwe lunyiriri lw’Abaluda;

abaava mu Naamani, lwe lunyiriri lw’Abanaamani.

41 (AA)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).

42 (AB)Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu.

Abo be baava mu Ddaani. 43 Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).

44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Imuna, lwe lunyiriri lw’Abayimuna;

abaava mu Isuvi, lwe lunyiriri lw’Abayisuvi;

abaava mu Beriya, lwe lunyiriri lw’Ababeriya.

45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:

abaava mu Keberi, lwe lunyiriri lw’Abakeberi;

abaava mu Malukiyeeri, lwe lunyiriri lw’Abamalukiyeeri.

46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.

47 (AC)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

48 (AD)Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

abaava mu Yazeeri, lwe lunyiriri lw’Abayazeeri,

abaava mu Guni, lwe lunyiriri lw’Abaguni

49 abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri;

abaava mu Siremu, lwe lunyiriri lw’Abasiremu.

50 (AE)Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).

51 (AF)Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).

Okugabanya Ensi

52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 53 (AG)“Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli. 54 (AH)Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi. 55 (AI)Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo. 56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”

Okubala Abaleevi

57 (AJ)Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:

abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni;

abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi;

abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.

58 (AK)Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:

olunyiriri lw’Ababalibuni,

olunyiriri lw’Abakebbulooni,

olunyiriri lw’Abamakuli,

olunyiriri lw’Abamusi,

n’olunyiriri lw’Abakoola.

Kokasi yazaala Amulaamu. 59 (AL)Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu. 60 (AM)Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 61 (AN)Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

62 (AO)Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.

63 (AP)Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko. 64 (AQ)Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi. 65 (AR)Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.

Zabbuli 69

Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.

69 (A)Ondokole, Ayi Katonda,
    kubanga amazzi gandi mu bulago.
(B)Ntubira mu bitosi
    nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
    n’amataba gansaanikira.
(C)Ndajanye ne nkoowa,
    n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
    olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
(D)Abo abankyayira obwereere
    bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
    abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
    ekyo kye sibbanga.

(E)Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
    n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.

Sisaana kuswaza
    abo abakwesiga,
    Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
    baleme kuswazibwa ku lwange,
    Ayi Katonda wa Isirayiri.
(F)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
    n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
(G)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
    munnaggwanga eri abaana ba mmange.
(H)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
    n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 (I)Bwe nkaaba ne nsiiba,
    ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 (J)Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 (K)Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
    era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.

13 (L)Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
    mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
    ondokole nga bwe wasuubiza.
14 (M)Onnyinyulule mu ttosi
    nneme okutubira;
omponye abankyawa,
    onzigye mu mazzi amangi;
15 (N)amataba galeme okumbuutikira
    n’obuziba okunsanyaawo,
    n’ennyanja ereme okummira.

16 (O)Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
    onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 (P)Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
    kubanga ndi mu kabi.
18 (Q)Onsemberere onziruukirire,
    onnunule mu balabe bange.

19 (R)Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
    era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 (S)Okusekererwa kunkutudde omutima
    era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
    n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 (T)Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
    era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.

22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
    n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 (U)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 (V)Bayiweeko ekiruyi kyo,
    obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 (W)Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
    waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 (X)Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
    ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 (Y)Bavunaane omusango kina gumu,
    era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 (Z)Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
    baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.

29 (AA)Ndi mu bulumi era mu nnaku;
    obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 (AB)Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
    nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 (AC)Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
    oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 (AD)Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
    mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 (AE)Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
    era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.

34 (AF)Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
    awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 (AG)Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
    n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36     (AH)Abaana b’abaweereza be balikisikira;
    n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.

Isaaya 16

16 (A)“Muweereze abaana b’endiga
    eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
    okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
(B)Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
    n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
    awasomokerwa Alunooni.[a]

(C)“Tuwe ku magezi,
    tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
    wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
    abajja badaaga temubalyamu lukwe.
(D)Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
    Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”

Omujoozi bw’aweddewo,
    n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
    omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
(E)Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
    era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
    alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
    era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.

(F)Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
    nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
    naye okwemanya kwe tekugasa.
(G)Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
    leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
    musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
    n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
    emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
    nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
    nga gituukira ddala mu nnyanja.
(H)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
    olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
    ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
    n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (I)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
    ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
    okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (J)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
    emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 (K)Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
    alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
    tekirimuyamba.

13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 14 (L)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

1 Peetero 4

Obulamu Obuggya

Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. (A)Okuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. (B)Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. (C)Kaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. (D)Abantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. (E)Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa

(F)Enkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. (G)N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. (H)Musembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 (I)Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 (J)Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo

12 (K)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (L)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (M)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (N)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (O)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 (P)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
    kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”

19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.