M’Cheyne Bible Reading Plan
Okulagula kwa Balamu Okusooka
23 (A)Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” 2 (B)Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
3 (C)Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
4 (D)Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
5 (E)Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
6 (F)N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. 7 (G)Balamu n’alagula nti,
“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
jjangu oboole Isirayiri.’
8 (H)Nnyinza okukolimira
abo Mukama Katonda batakolimidde?
Nnyinza okuboola
abo Mukama Katonda baatabodde?
9 (I)Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi
mbalengera nga nsinziira ku nsozi.
Ndaba abantu abeeyawuddeko
abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 (J)Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?
Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,
n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
11 (K)Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
12 (L)N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
Okulagula kwa Balamu Okwokubiri
13 Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.” 14 (M)N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
15 Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
16 (N)Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
17 N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
18 Bw’atyo n’alagula nti,
“Golokoka, Balaki, owulirize;
mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 (O)Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
Asuubiza n’atatuukiriza?
20 (P)Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa;
agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.
21 (Q)“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo,
tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri.
Mukama Katonda waabwe ali nabo;
eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 (R)Katonda ye yabaggya mu Misiri,
balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 (S)Tewali bulogo ku Yakobo,
tewali bulaguzi ku Isirayiri.
Kiryogerwako ku Yakobo
ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 (T)Abantu basituka ng’empologoma enkazi,
beezuukusa ng’empologoma ensajja
etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo
n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
25 Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”
26 Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”
Okulagula kwa Balamu Okwokusatu
27 (U)Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.” 28 (V)Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
29 Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.” 30 Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 (B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 (C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 (D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 (E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 (F)Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 (G)Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.
Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
65 (I)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2 (J)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3 (K)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
n’otutangiririra.
4 (L)Alina omukisa oyo gw’olonda
n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5 (M)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
abali ewala mu nnyanja zonna,
6 (N)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
n’ozinyweza n’amaanyi go,
7 (O)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9 (P)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
okuwa abantu emmere ey’empeke,
kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (Q)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (R)Amalundiro gajjula ebisibo,
n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Obunnabbi Obukwata ku Kugwa kwa Babulooni
13 Obubaka bwa Babulooni Isaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba.
2 (A)Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu,
mubakaabirire
mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
3 (B)Nze Mukama ndagidde abatukuvu bange
mpise abalwanyi bange ab’amaanyi,
babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.
4 (C)Muwulirize oluyoogaano lw’ekibiina ku nsozi,
nga luwulikika ng’olw’ogubiina ogunene!
Wuliriza, oluyoogaano lw’obwakabaka,
olw’amawanga ag’ekuŋŋaanyizza awamu!
Mukama Katonda ow’Eggye ateekateeka
eggye lye okulwana.
5 (D)Bava wala mu nsi ezeewala ennya
okuva ku nkomerero y’eggulu.
Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa
eby’okuzikiriza ensi yonna.
6 (E)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
7 (F)Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi,
na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka;
8 (G)era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala.
Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
9 Laba olunaku lwa Mukama lujja,
olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka
okufuula ensi amatongo,
n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
10 (H)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
n’omwezi nagwo tegulyaka.
11 (I)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
12 (J)Abantu ndibafuula abebbula
okusinga zaabu ennongoose eya ofiri.
13 (K)Noolwekyo ndikankanya eggulu,
era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo,
olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye,
ku lunaku lw’obusungu bwe obungi.
14 (L)Era ng’empeewo eyiggibwa,
ng’endiga eteriiko agirunda,
buli muntu aliddukira eri abantu be
buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
15 (M)Buli anaalabwangako ng’ekitala kimuyitamu,
buli gwe banaakwatangako ng’attibwa n’ekitala.
16 (N)N’abaana baabwe abawere banabetenterwanga mu maaso gaabwe nga balaba;
ennyumba zaabwe zinyagibwe, n’abakazi baabwe bakwatibwe olw’empaka.
17 (O)Laba, ndibayimbulira Abameedi,
abatafa ku ffeeza
era abateeguya zaabu.
18 Emitego gyabwe girikuba abavubuka
era tebaliba na kisa eri abawere.
Amaaso gaabwe tegalisaasira baana bato.
19 (P)Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka,
obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya,
kiriba nga Sodomu ne Ggomola
Katonda bye yawamba.
20 (Q)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.
21 (R)Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo;
ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola;
bammaaya banaabeeranga eyo,
n’ebikulekule bibuukire eyo.
22 (S)N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe,
ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka,
ennaku ze teziryongerwako.
Okulamusa
1 (A)Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya, 2 (B)Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako.
Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.
Essuubi Eddamu
3 (C)Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. 4 (D)Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. 5 (E)Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. 6 (F)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 7 (G)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. 8 (H)Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, 9 (I)era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe.
10 (J)Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 11 (K)Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 12 (L)Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
Twayitibwa kuba Batukuvu
13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 (M)Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 (N)Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 (O)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.”
17 (P)Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 (Q)Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 (R)Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 (S)Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 21 (T)Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda.
22 (U)Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 23 (V)Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24 Kubanga,
“Abantu bonna bali ng’omuddo,
n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25 (W)Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”
Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.