Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okubala 36

Okufumbirwa kw’Abasika Abakazi

36 (A)Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri. (B)Ne bagamba nti, “Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala. Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako. (C)Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”

Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu. Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe. (D)Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe. (E)Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe. Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.”

10 Bwe batyo bawala ba Zerofekadi ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa. 11 (F)Bawala ba Zerofekadi bano: Maala, ne Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, baafumbirwa batabani ba baganda ba bakitaabwe. 12 Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.

13 (G)Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

Zabbuli 80

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

(F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Isaaya 28

Zikusanze Efulayimu

28 (A)Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu,
    zikusanze ekimuli ekiwotoka[a] eky’obulungi bw’ekitiibwa kye,
ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,
    Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
(B)Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala,
    ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza,
ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba,
    bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.
(C)Engule ey’amalala ey’abatamiivu ba Efulayimu
    aligibetenta n’ebigere bye.
(D)Ekimuli ekyo ekiwotoka eky’obulungi bw’ekitiibwa kye
    ekiri waggulu w’ekiwonvu ekigimu,
kiriba ng’ettiini erisooka okwengera nga n’amakungula tegannatuuka,
    era omuntu bw’aliraba alinoga n’alirya.

(E)Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye
    aliba ngule ya kitiibwa,
engule ennungi
    ey’abantu be abaasigalawo.
(F)Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya
    oyo atuula n’asala emisango,
Aliba nsibuko ya maanyi
    eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.

(G)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
    era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
    era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
    batagala ne bava mu kwolesebwa,
    era tebasalawo nsonga.
(H)Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
    tewakyali kifo kiyonjo.

(I)“Ani gw’agezaako okuyigiriza?
    Ani gw’annyonnyola obubaka bwe?
Abaana abaakalekayo okuyonka
    oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga kola okole, kola okole
    Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
    Wano katono na wali katono.”
11 (J)Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo
    n’emimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12 (K)abo be yagamba nti,
    Kino kye kifo eky’okuwummuliramu eri oyo akooye,
era kye kifo eky’okuwerera
    naye ne bagaana okuwuliriza.
13 (L)Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali
    kola okole, kola okole,
    ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro,
    wano katono na wali katono,
balyoke bagende bagwe kya bugazi,
    era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.

14 (M)Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi,
    mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15 (N)Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”

16 (O)Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja,
    ejjinja eryagezesebwa, ery’oku nsonda,
ery’omuwendo, okuba omusingi;
    oyo alyesiga taliterebuka.
17 (P)Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima,
    n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza,
era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba,
    n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.
18 (Q)N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka,
    n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera.
Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja,
    kiribagwira.
19 (R)Weewaawo buli lwe kinaayitanga,
    kinaabagwiranga
    buli lukya emisana n’ekiro.”

Era okutegeera obubaka buno
    kirireeta ntiisa njereere.
20 (S)Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako,
    ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21 (T)Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu,
    era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu eky’e Gibyoni,
alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa,
    atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22 (U)Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera.
Nawulira okuva eri Mukama Katonda ow’Eggye
    ng’awa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.

23 Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange;
    Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
24 Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata?
    Alima bw’ayimirira n’atema amavuunike mu ttaka?
25 (V)Bw’amala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, n’asaasaanya kumino?
    Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo,
ne sayiri mu kibanja kyayo,
    n’omukyere mu nnimiro yaagwo?
26 Katonda we amuwa ebiragiro,
    n’amuyigiriza ekkubo etuufu.

27 Empinnamuti teziwuulibwa na luso,
    newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga w’eggaali.
Empinnamuti zikubibwa na muggo
    ne kumino n’ekubibwa n’oluga.
28 Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati,
    So n’omuntu tagiwuula butamala.
Newaakubadde ng’agitambulizaako nnamuziga w’eggaali lye eriwuula,
    Embalaasi ze si zeezigisa.
29 (W)Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye,
    ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo,
    asinga amagezi.

2 Yokaana

(A)Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. (B)Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.

(C)Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.

(D)Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. (E)Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” (F)Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.

(G)Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. (H)Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. (I)Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 10 (J)Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 11 (K)Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.

12 (L)Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.

13 (M)Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.