M’Cheyne Bible Reading Plan
Ekyoto eky’Ekiweebwayo Ekyokebwa
38 Yazimba ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa mu miti gy’akasiya, mita emu ne desimoolo ssatu obugulumivu, ne mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 2 (A)Ku nsonda zaakyo ennya yakolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe yabibajja bumu mu nduli y’omuti emu. Ekyoto kyonna n’alyoka akibikkako ekikomo. 3 (B)Ate n’akola eby’okukozesa ku kyoto: ensaka, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni. Ebyo byonna yabikola mu kikomo. 4 Ekyoto yakikolera ekitindiro eky’obutimba obw’ekikomo, n’akireebeeseza ku mukiikiro gw’ekyoto, n’akissa mu kyoto okutuuka mu makkati gaakyo. 5 N’akola empeta nnya ku nsonda ennya ez’ekitindiro ky’ekikomo nga ze z’okuwanirira emisituliro. 6 Emisituliro gino yagibajja mu muti gwa akasiya, n’agibikkako ekikomo. 7 N’asonseka emisituliro egyo ng’agiyisa mu mpeta mu mbiriizi z’ekyoto, gikozesebwenga ng’ekyoto kisitulwa. Yakikola n’embaawo nga wakati kya muwulukwa.
8 (C)N’akola ebbensani ey’ekikomo n’akameeza kaayo, bye yaweesa okuva mu ndabirwamu ez’ekikomo ezaagabwa abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Oluggya lw’Eweema ya Mukama
9 Ekyaddirira, yakola oluggya. Ku luuyi olw’obukiikaddyo, oluggya lwali obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, nga lulina amagigi aga linena omulungi omulebevu alangiddwa, 10 n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo mwe bituula ez’ekikomo amakumi abiri, nga kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11 Ne ku luuyi olw’obukiikakkono oluggya lwali obuwanvu mita ana mu mukaaga, n’ebikondo amakumi abiri, n’ebikolo byabyo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro gyako gyali gya ffeeza.
12 Ku luuyi olw’ebugwanjuba oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri, ne desimoolo ttaano nga luliko entimbe, n’ebikondo kkumi, n’entobo kkumi; n’amalobo n’emikiikiro nga bya ffeeza. 13 Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba oluggya lwali obugazi mita amakumi abiri mu bbiri n’obutundu butaano. 14 Ku ludda olumu olw’omulyango kwaliko amagigi obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 15 Ne ku ludda olulala olw’omulyango nakwo kwaliko entimbe obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, era n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 16 Entimbe zonna okwebungulula oluggya zaali za linena omulungi omulebevu alangiddwa. 17 Entobo z’ebikondo zaali za kikomo, naye amalobo n’emikiikiro gyako nga bya ffeeza, ne ku mitwe gyabyo nga kubikkiddwako ffeeza; bwe bityo ebikondo byonna eby’omu luggya byaliko emikiikiro gya ffeeza.
18 Olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya lwakolebwa mu linena omulungi omulebevu alangiddwa obulungi, nga lutungiddwamu amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu. Lwali luweza obuwanvu mita mwenda n’obugulumivu mita bbiri n’obutundu busatu, ng’entimbe ez’oluggya bwe zaali. 19 Lwalina empagi nnya, n’entobo zaazo nnya nga za kikomo, n’amalobo gaazo n’emikiikiro nga bya ffeeza, ne kungulu kwonna ne kubikkibwako ffeeza. 20 (D)Enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama n’okwebungulula oluggya zaali za kikomo.
Ebyakozesebwa ku Weema ya Mukama
21 (E)Bino bye bintu byonna ebyakozesebwa ku Weema, Eweema ya Mukama ey’Obujulizi, nga Musa bwe yalagira okubibala bikozesebwe Abaleevi nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 22 (F)Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna Mukama bye yalagira Musa; 23 (G)baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. 24 (H)Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri Mukama, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.
25 (I)Ne ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 26 (J)Noolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 27 (K)Ffeeza ow’obuzito bwa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina ye yasaanuusibwa okukolamu entobo ekikumi ez’Awatukuvu n’eggigi: noolwekyo, nga buli kilo amakumi asatu mu nnya zikola entobo emu. 28 Kilo amakumi asatu ezaasigalawo zaakolwamu amalobo ag’oku bikondo n’emikiikiro gyabyo, n’okubikka ku mitwe gy’ebikondo.
29 Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyali kilo enkumi bbiri mu ebikumi bina. 30 Omwo Bezaaleeri mwe yakola ekituurwamu eky’omulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto eky’ekikomo, n’ekitindiro eky’obutimba eky’ekikomo, n’ebikozesebwa ebirala byonna eby’ekyoto, 31 n’ekituurwamu okwebungulula oluggya, n’ekituurwamu eky’omulyango omunene ogw’oluggya, n’enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama, n’enkondo zonna okwebungulula oluggya.
Yesu Yeesabira
17 (A)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti,
“Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize, 2 (B)nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. 3 (C)Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4 (D)Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. 5 (E)Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”
Yesu Asabira Abayigirizwa be
6 (F)“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo. 7 Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli, 8 (G)kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9 (H)Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. 10 (I)Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa. 11 (J)Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 12 (K)Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
13 (L)“Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14 (M)Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi. 15 (N)Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi. 16 (O)Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. 17 (P)Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. 18 (Q)Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi. 19 Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”
Yesu Asabira Abakkiriza Bonna
20 “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe, 21 (R)bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22 (S)Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 23 (T)Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”
24 (U)“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
25 (V)“Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma. 26 (W)Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
14 (A)Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,
naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
2 Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama,
naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.
3 (B)Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,
naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
4 Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,
naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
5 (C)Omujulizi ow’amazima talimba,
naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.
6 Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,
naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.
7 Teweeretereza muntu musirusiru,
kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.
8 (D)Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,
naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
9 Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,
naye abalongoofu baagala emirembe.
10 Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,
tewali ayinza kugusanyukirako.
11 (E)Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,
naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.
12 (F)Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,
naye ng’enkomerero yaalyo kufa.
13 (G)Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,
era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.
14 (H)Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,
n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,
naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.
16 (I)Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi,
naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
17 (J)Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,
n’omukalabakalaba akyayibwa.
18 Abatalina magezi basikira butaliimu,
naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.
19 (K)Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,
n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.
Omugagga n’Omwavu
20 (L)Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,
naye abagagga baba n’emikwano mingi.
21 (M)Anyooma muliraanwa we akola kibi,
naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?
Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.
23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,
naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga,
naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.
25 (N)Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,
naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.
26 (O)Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi,
era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
27 (P)Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu,
kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,
naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.
29 (Q)Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
30 (R)Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,
naye obuggya buvunza amagumba ge.
31 (S)Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,
naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
32 (T)Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,
naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.
33 (U)Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,
era yeeyoleka ne mu basirusiru.
34 (V)Obutuukirivu buzimba eggwanga,
naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.
35 (W)Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,
naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
Okulamusa
1 (A)Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; 2 (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Okwebaza n’okusaba Katonda
3 (C)Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 (D)era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 (E)Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 (F)Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 7 (G)Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 9 (H)Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 (I)mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 (J)nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.
Obusibe bwa Pawulo bubunyisa Njiri
12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 (K)n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 (L)N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya.
15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 (M)Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 17 (N)Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.
Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 (O)Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 (P)Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 (Q)Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 (R)Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange.
27 (S)Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 29 (T)Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 30 (U)Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.