Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 30

Ekyoto ky’Obubaane

30 (A)“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane. (B)Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi. Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola. Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa. Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu. (C)Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.

(D)“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala. Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. (E)Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa. 10 (F)Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”

Ebiweebwayo mu Weema ya Mukama

11 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 12 (G)“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu. 13 (H)Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama. 14 Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama. 15 (I)Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe. 16 (J)Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”

Ebbensani Omunaabirwa

17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 18 (K)“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi. 19 (L)Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 20 Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro, 21 (M)banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Amafuta ag’Okusiiga

22 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 23 (N)“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu; 24 (O)ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri. 25 (P)Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako. 26 (Q)Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano, 27 n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane, 28 n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula. 29 (R)Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.

30 (S)“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona. 31 Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna. 32 (T)Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu. 33 (U)Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’ ”

Ebyakaloosa

34 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito, 35 (V)Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu. 36 (W)Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli. 37 (X)Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama. 38 (Y)Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

Yokaana 9

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. (A)Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”

(B)Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. (C)Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. (D)Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”

(E)Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. (F)N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

(G)Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 11 (H)N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”

12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”

Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa

13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 14 (I)Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 15 (J)Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”

16 (K)Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.

17 (L)Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”

Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”

18 (M)Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (N)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (O)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

24 (P)Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”

25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”

26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”

27 (Q)Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 (R)Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 (S)Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”

30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 31 (T)Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 (U)Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

34 (V)Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.

Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo

35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”

36 (W)Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”

37 (X)Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”

38 (Y)Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.

39 (Z)Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”

40 (AA)Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”

41 (AB)Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

Engero 6

Okulabula ku Butamanya n’Obusirusiru

(A)Mutabani obanga weeyimirira muliraanwa wo,
    ne weeyama okuyamba omuntu gw’otomanyi, oli mu katyabaga.
Obanga weesibye n’ebigambo ggwe kennyini bye wayogera,
    ng’ebigambo by’omu kamwa ko bikusibye,
kino mwana wange ky’oba okola okusobola okwewonya,
    kubanga kaakano oli mu buyinza bwa muliraanwa wo:
Yanguwa, ogende weetoowaze,
    weegayirire muliraanwa wo.
(B)Amaaso go togaganya kwebaka,
    wadde ebikowe byo okubongoota.
(C)Onunule obulamu bwo ng’empeewo bw’edduka okuva mu ngalo z’omuyizzi,
    era ng’ekinyonyi, bwe kiva mu mutego gw’omutezi.

(D)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
    fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
Tebirina mukulembeze,
    mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
(E)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
    ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

(F)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
    Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (G)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (H)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Okulabula eri Omuntu Omutabuzitabuzi

12 Omuntu ataliiko ky’agasa, omusajja omubi
    agenda ayogera ebigambo ebitabulatabula,
13 (I)agenda atemyatemya ku liiso,
    nga bw’akuba ebigere
    ate nga bw’asongasonga olunwe,
14     (J)olw’omutima omukyamu, ateekateeka okukola ebibi,
    bulijjo aleeta obutakkaanya mu bantu!
15 (K)Noolwekyo okuzikirira kulimujjira mbagirawo,
    mu kaseera buseera alibetentebwa awatali kuwona.

Okulabula ku Bibi Omusanvu

16 Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,

weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.

17 (L)Amaaso ag’amalala,

emimwa egirimba,

okuttira abantu obwereere;

18 (M)omutima ogutegeka okukola ebibi,

ebigere ebyanguwa okukola ebibi,

19 (N)obujulizi obw’obulimba,

n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Okulabula Ku Bwenzi

20 (O)Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
    era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
21 (P)Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
    era obisibe binywerere mu bulago bwo.
22 Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
    ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
    ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
23 (Q)Kubanga amateeka ttabaaza,
    era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
    ly’ekkubo ery’obulamu,
24 (R)okukuwonya omukazi ow’ebibi,
    okukuggya mu kunyumiikiriza kw’omukazi omwenzi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo,
    wadde okumukkiriza okukuwamba n’amaaso ge,
26 (S)kubanga malaaya akussa ku muwendo ogugula omugaati,
    era omukazi omwenzi anoonya kuzikiririza ddala bulamu bwo.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye,
    ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya,
    ebigere bye ne bitasiriira?
29 (T)Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,
    buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

30 Abantu tebasekerera muntu bw’abba,
    olw’okwewonya enjala.
31 (U)Naye bwe bamukwata aba alina okuwa engassi ya mirundi musanvu;
    ne bwe kiba nga kimumalako ebintu bye byonna eby’omu nju ye.
32 (V)Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;
    kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.
33 (W)Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;
    n’obuswavu tebulimusangulibwako.

34 (X)Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,
    era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.
35 (Y)Talikkiriza mutango gwonna,
    wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.

Abaggalatiya 5

Eddembe mu Kristo

(A)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

(B)Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. (C)Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. (D)Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. (E)Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. (F)Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

(G)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? (H)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. (I)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (J)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (K)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

13 (L)Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 (M)Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 (N)Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 (O)Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 (P)Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19 (Q)Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 (R)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22 (S)Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 (T)obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 (U)N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 (V)Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.