M’Cheyne Bible Reading Plan
Eweema ya Mukama
26 “Onookola Weema n’emitanda gy’entimbe kkumi, nga girukiddwa mu wuzi eza linena omulebevu alangiddwa n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu. Omutunzi ow’amagezi ennyo akoleremu bakerubi. 2 Emitanda gy’entimbe gyonna gijja kwenkanankana: obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 3 Emitanda gy’entimbe etaano onoogigatta wamu, ng’ogisengese gumu ku gunnaagwo, era ne ginnaagyo ettaano ogikole bw’otyo. 4 Otunge eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe ettaano, era okole bw’otyo ne ku ŋŋango ekomererayo mu kitundu ekyokubiri. 5 Otunge eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gw’entimbe ogumu, n’eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe mu kitundu ekikomererayo, eŋŋango ezo nga zoolekaganye. 6 Okole ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, okwase wamu emitanda gy’entimbe gyombi n’ebikwaso ebyo, olwo Eweema ya Mukama ebeere wamu nga nnamba.
Eby’okussa mu Weema
7 “Okole entimbe kkumi na lumu nga zilukiddwa mu bwoya bw’embuzi, ozibikke ku Weema. 8 Entimbe zonna ekkumi n’olumu zijja kwenkanankana obunene: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, n’obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 9 Ogatte entimbe ttaano wamu, n’entimbe omukaaga ozigatte wamu. Olutimbe olw’omukaaga oluwetemu mu maaso g’Eweema. 10 Ojja kutunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ky’entimbe ekimu, ne ku mukugiro gw’olutimbe olukomererayo mu kitundu ekyokubiri. 11 Okole ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, obiyise mu ŋŋango, bikwate ekibikka ku Weema, ebeere wamu nga nnamba. 12 Ekitundu ky’entimbe ekisigaddewo ku masuuka g’ebibikka ku Weema kijja kuleebeetera emabega wa Weema. 13 Entimbe z’ekibikka ku Weema mu mbiriizi zombi ziyise Eweema ya Mukama kitundu kya mita emu mu buwanvu. Ebitundu bino byombi bijja kuleebeetera mu mbiriizi zombi eza Weema nga bigibisse. 14 (A)Ekibikka ku Weema okikolereko ekibikkako eky’amaliba g’endiga nga gasiigiddwa erangi emyufu, okwo obikkeko amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
15 “Obajje embaawo mu muti gwa akasiya oziyimirize zikole omudaala gw’Eweema kweneetuula. 16 Buli lubaawo lube obuwanvu mita nnya n’ekitundu, ate obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 17 Buli lubaawo oluteekeko obubaawo obuyiseemu bubiri, nga butunulaganye n’embaawo zonna. Embaawo zonna ez’omudaala gw’Eweema ya Mukama ozikole bw’otyo. 18 Okole embaawo amakumi abiri ozisse ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 19 era okole entobo eza ffeeza amakumi ana, zibeere wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 20 Ku ludda olwa bukiikakkono olw’Eweema ya Mukama okolereyo embaawo amakumi abiri, 21 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri wansi wa buli lubaawo. 22 Okole embaawo mukaaga oziteeke ku ludda olw’emabega, lwe lw’ebugwanjuba bwa Weema; 23 era okole embaawo bbiri ez’okussa ku nsonda ku ludda olwo. 24 Ku nsonda zino ebbiri embaawo zombi ozisibe wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ozinyweze n’empeta. 25 Kwe kugamba nti wajja kubeerawo embaawo zonna awamu munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga ku buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri.
26 “Osale buliti mu muti gwa akasiya: buliti ttaano ez’okukozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 27 ne buliti ttaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, ne buliti ttaano okukozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 28 Omulabba guyite wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 29 Embaawo ozibikkeko zaabu, era okole empeta eza zaabu ozisibise buliti; ne buliti nazo ozibikkeko zaabu. 30 (B)Eweema ya Mukama onoogizimba ng’ogoberera ekifaananyi ekyakulagibwa ng’oli ku lusozi.
Eggigi
31 (C)“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi. 32 Oliwanike n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezibajjiddwa mu muti gwa akasiya nga zibikkiddwako zaabu, era nga ziyimiriziddwa mu ntobo eza ffeeza. 33 (D)Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.[a] 34 (E)Onosse ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira ku Ssanduuko ey’Endagaano munda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo. 35 (F)Oddire emmeeza ogisse ku ludda olwa ddyo mu kisenge ebweru w’eggigi mu Weema, n’ettaala ogisse ku ludda olwa kkono ng’eyolekedde emmeeza.
36 “Okole olutimbe lw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa omulungi; nga byonna bitungiddwa bulungi. 37 Olutimbe olukolere empagi ttaano ng’ozibazze mu muti gwa akasiya, ozibikkeko zaabu, n’amalobo gaalwo gabe zaabu; ogiweeseze entobo ttaano ez’ekikomo.”
Yesu Awonyeza ku Kidiba
5 Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. 2 (A)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. 4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. 5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. 6 Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 (B)Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” 9 (C)Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti. 10 (D)Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”
12 Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 (E)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.” 15 (F)Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti. 17 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.” 18 (H)Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
19 (I)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola. 20 (J)Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. 21 (K)Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. 22 (L)Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, 23 (M)abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 (N)“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. 25 (O)Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. 26 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, 27 (P)era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
28 (Q)“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye 29 (R)ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa. 30 (S)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. 31 (T)Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima. 32 (U)Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 (V)“Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima. 34 (W)Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe. 35 (X)Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 (Y)“Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma 37 (Z)ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye. 38 (AA)N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma. 39 (AB)Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. 40 Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 (AC)“Sinoonya kusiimibwa bantu. 42 Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda. 43 Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza. 44 (AD)Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 (AE)“Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi. 46 (AF)Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako. 47 (AG)Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
Empeera y’Okunoonya Amagezi
2 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
2 (A)era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
4 (B)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
5 (C)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
era n’ovumbula okumanya Katonda.
6 (D)Kubanga Mukama awa amagezi;
era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
7 (E)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
8 (F)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (G)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 (H)Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
n’okutegeera kunaakukuumanga:
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 (I)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 (J)abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 (K)abantu abo be b’amakubo amakyamu,
era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
16 (L)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (M)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (N)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (O)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
1 (A)Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, 2 (B)awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, 3 (C)nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; 4 (D)Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, 5 (E)aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.
Tewali Njiri Ndala
6 (F)Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. 7 (G)Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. 8 (H)Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. 9 (I)Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.
10 (J)Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. 11 (K)Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, 12 (L)era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 13 (M)Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza, 14 (N)era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. 15 (O)Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 16 (P)n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, 17 newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
18 (Q)Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 19 (R)Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 20 (S)Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21 Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22 Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 23 (T)Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 24 (U)Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.