M’Cheyne Bible Reading Plan
36 (A)“Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”
2 (B)Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola. 3 (C)Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya. 4 Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe, 5 (D)ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”
6 Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo; 7 (E)kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo.
Eweema ya Mukama Ekolebwa
8 Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi. 9 Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana. 10 Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo. 11 Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala. 12 Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye. 13 (F)Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; eweema ya Mukama n’ebeera wamu nga nnamba.
14 Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema. 15 Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana. 16 Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo. 17 Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo. 18 (G)Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu. 19 Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba g’endiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
20 Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema. 21 Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu. 22 Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema ya Mukama bwe baazikola bwe batyo. 23 Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema, 24 era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo. 25 Ate ku ludda olw’obukiikakkono olw’Eweema ya Mukama ne bakolerayo embaawo amakumi abiri, 26 n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo. 27 Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olw’emabega wa Weema, lwe lw’ebugwanjuba; 28 era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ez’oku ludda olwo olw’ebugwanjuba. 29 Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta. 30 Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.
31 Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu, 32 n’emikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, n’emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba. 33 Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala. 34 Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; n’emikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu.
Eggigi Likolebwa
35 (H)Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu n’atungiramu bakerubi. 36 Ne baliwanika n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza. 37 (I)Ne bakola olutimbe olw’omu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi. 38 Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako n’amalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (A)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (B)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (C)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (D)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (E)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (F)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (G)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 (H)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (I)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (J)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire. 12 (K)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala. 13 (L)Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. 14 (M)Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira. 15 (N)Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba. 16 (O)Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga. 17 (P)Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 (Q)“Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze. 19 (R)Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa. 20 (S)Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera. 21 (T)Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22 (U)Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe. 23 Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange. 24 (V)Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange. 25 (W)Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
26 (X)“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako. 27 (Y)Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”
12 (A)Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;
naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.
2 Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.
3 (B)Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.
4 (C)Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.
5 Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.
6 (D)Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.
7 (E)Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.
8 Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,
naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.
9 Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,
asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.
10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.
11 (F)Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,
naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.
12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,
naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.
13 (G)Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,
naye omutuukirivu awona akabi.
14 (H)Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,
n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.
15 (I)Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.
16 (J)Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,
naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.
17 (K)Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,
naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.
18 (L)Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.
19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,
naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.
20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,
naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.
21 (M)Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,
naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.
22 (N)Mukama akyawa emimwa egirimba,
naye asanyukira ab’amazima.
23 (O)Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,
naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.
24 (P)Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,
naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.
25 (Q)Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,
naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.
26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,
naye ekkubo ly’ababi libabuza.
27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,
naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.
28 (R)Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,
era mu kkubo eryo temuli kufa.
Okubeera mu Musana
5 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 2 (A)Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.
3 (B)Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. 4 Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. 5 (C)Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6 (D)Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. 7 Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.
8 (E)Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, 9 (F)ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 (G)Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 (H)Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,
“Zuukuka ggwe eyeebase,
Ozuukire mu bafu,
Kristo anaakwakira.”
15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 (I)nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 (J)Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 (K)Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 (L)Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 (M)Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
Abakazi ne ba bbaabwe
21 (N)Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.
22 (O)Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 (P)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.
25 (Q)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (R)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (S)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 (T)N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 (U)kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 (V)“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 (W)Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.