Add parallel Print Page Options

14 Awo bwe baamaliriza, ensimbi ezafikkawo ne bazikomyawo ewa kabaka ne Yekoyaada, ate ezo ne zikozesebwa okukola ebintu eby’omu yeekaalu ya Mukama, eby’obuweereza n’eby’ebiweebwayo ebyokebwa, ne bbakuli ez’obubaane, n’ebibya ebya zaabu ne ffeeza. Era ne baweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama ennaku zonna eza Yekoyaada.

Read full chapter

10 (A)Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.”

Read full chapter

Mu kugezesebwa okw’okubonaabona, baagattika essanyu lyabwe ery’ekitalo n’obwavu bwabwe obungi, ne bafunamu okugaba okwewuunyizibwa ennyo. (A)Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira.

Read full chapter