Add parallel Print Page Options

12 (A)“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu.

Read full chapter

13 (A)Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama.

Read full chapter

14 Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama.

Read full chapter

Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri

37 (A)Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa.

Read full chapter

46 (A)Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Read full chapter