Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 46

Yakobo Agenda e Misiri

46 (A)Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.

(B)Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”

N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

(C)Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. (D)Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”

(E)Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. (F)Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. (G)Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.

Abaana n’Abazzukulu ba Yakobo

(H)Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:

Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,

(I)ne batabani ba Lewubeeni:

Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.

10 (J)Ne batabani ba Simyoni:

Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.

11 (K)Ne batabani ba Leevi:

Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.

12 (L)N’aba Yuda:

Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.

Batabani ba Pereezi baali:

Kezulooni ne Kamuli.

13 (M)Bo aba Isakaali baali:

Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.

14 (N)Batabani ba Zebbulooni baali

Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.

15 Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.

16 (O)Batabani ba Gaadi baali

Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.

17 (P)Bo batabani ba Aseri be bano:

Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya

awamu ne Seera mwannyinaabwe.

Bo Batabani ba Beriya baali

Keba ne Malukiyeeri.

18 (Q)Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.

19 (R)Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano

Yusufu ne Benyamini.

20 (S)Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.

21 (T)Ne batabani ba Benyamini be ba:

Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.

22 Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.

23 Mutabani wa Ddaani ye

Kusimu.

24 Bo aba Nafutaali be ba:

Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.

25 (U)Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.

26 (V)Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 27 (W)Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu[a].

Okutuula e Misiri

28 (X)Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 (Y)Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.

30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”

31 (Z)Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 (AA)Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 (AB)Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”

Makko 16

16 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. (B)Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.

Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. (C)Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!

(D)Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. (E)Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”

Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

(F)Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 11 (G)N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!

Yesu Alabikira Abayigirizwa Ababiri

12 (H)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n’Omu

14 (I)Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.

15 (J)N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 16 (K)Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 17 (L)Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 18 (M)Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

19 (N)Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.

Yobu 12

Yobu Ayanukula

12 Awo Yobu n’amuddamu nti,

(A)“Awatali kubuusabuusa muli bantu.
    Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.
(B)Naye nange nnina amagezi ntegeera,
    temunsinga.
    Ani atabimanyi ebyo byonna?
(C)Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.
    Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,
    ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!
Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,
    ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.
(D)Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,
    era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe
    abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.
Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,
    oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.
Oba yogera n’ettaka linaakusomesa
    oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.
(E)Biki ku bino ebitamanyi nti,
    omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?
10 (F)Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,
    na buli mukka ogussibwa abantu bonna.
11 (G)Okutu tekugezesa bigambo
    ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?
12 (H)Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?
    Okuwangaala tekuleeta kutegeera?
13 (I)Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;
    y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.
14 (J)Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;
    ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.
15 (K)Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,
    bw’agata gazikiriza ensi.
16 (L)Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,
    abalimba n’abalimbibwa bonna babe.
17 (M)Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,
    abalamuzi n’abafuula abasirusiru.
18 (N)Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,
    n’abasibamu obukete.[a]
19 (O)Bakabona abatwala nga tebalina kantu,
    n’asuula abasajja abaanywera.
20 (P)Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,
    era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.
21 Ayiwa ekivume ku bakungu,
    era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.
22 (Q)Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,
    n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.
23 (R)Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;
    agaziya amawanga n’agasaasaanya.
24 (S)Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;
    n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.
25 (T)Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;
    abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”

Abaruumi 16

Okulamusa

16 (A)Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa[a] ey’omu Kenkereya. (B)Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.

(C)Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.

(D)Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.

Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.

Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.

(E)Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.

Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.

(F)Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.

10 Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.

Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.

11 (G)Mundabire Kerodiyoni muganda wange.

Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.

12 Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.

Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.

13 Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.

14 Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.

15 (H)Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.

16 (I)Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.

Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.

Ebisembayo

17 (J)Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 (K)Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 (L)Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.

20 (M)Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.

Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.

21 (N)Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.

22 Nange Terutiyo[b] awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.

23 (O)Gaayo[c] ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.

24 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Pawulo abasiibula n’okusaba

25 (P)Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26 kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 (Q)Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.