M’Cheyne Bible Reading Plan
Ebikere Bibuna mu Bamisiri
8 (A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze. 2 Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna. 3 (B)Omugga gulivaamu ebikere enkumu ennyo ebirituuka ne mu lubiri lwo. Biriyingira mu kisenge kyo mw’osula, ne ku kitanda kyo. Biriyingira mu nnyumba z’abaweereza bo ne mu z’abantu bo. Biriyingira ne mu byoto omufumbirwa. 4 Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”
5 (C)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ” 6 (D)Bw’atyo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi gonna ag’omu Misiri; ebikere ne bivaayo ne bijjula ensi yonna ey’e Misiri. 7 (E)Abalogo nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama, nabo ne baleeta ebikere mu nsi ey’e Misiri.
8 (F)Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Mwegayirire Mukama anziggyeeko ebikere bino era ne ku bantu bange, ndyoke nange ndeke abantu bammwe bagende baweeyo ssaddaaka eri Mukama.” 9 Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
10 (G)Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe. 11 Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
12 Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo. 13 Mukama n’akolera Musa kye yamusaba. Ebikere ne bifiira mu mayumba, ne mu mpya mu byalo, ne mu nnimiro. 14 Ne bikuŋŋaanyizibwa entuumo n’entuumo; ensi n’ejjula ekivundu. 15 (H)Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
Ensekere Zibuna mu Bamisiri
16 Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ” 17 (I)Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere. 18 (J)Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
19 (K)Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
Ensowera Zibuna mu Bamisiri
20 (L)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze. 21 Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
22 (M)“ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi. 23 Nzija kussaawo enjawulo wakati w’abantu bange n’abantu bo. Ekyamagero kino kijja kubaawo enkeera.’ ”
24 (N)Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.
25 (O)Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.” 26 (P)Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja? 27 (Q)Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”
28 (R)Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.” 29 (S)Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
30 (T)Musa n’avaayo ewa Falaawo, n’asaba Mukama. 31 Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu. 32 (U)Kyokka ne ku mulundi guno, Falaawo yakakanyaza omutima gwe, abantu n’atabakkiriza kugenda.
Yesu Ayigiriza Okusaba
11 (A)Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2 (B)N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti,
“ ‘Kitaffe,[a]
Erinnya lyo litukuzibwe,
obwakabaka bwo bujje.
3 Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
4 (C)Era otusonyiwe ebyonoono byaffe,
nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo.
So totutwala mu kukemebwa.’ ”
5 Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu, 6 kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”
7 “Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’ 8 (D)Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.
9 (E)“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. 10 Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.
11 “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota? 12 Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba? 13 Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
Yesu ne Beeruzebuli
14 (F)Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya. 15 (G)Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!” 16 (H)Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
17 (I)Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika. 18 (J)Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli. 19 Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango. 20 (K)Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
21 “Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye. 22 Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.
23 (L)“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
24 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’ 25 Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke. 26 (M)Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
27 (N)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
28 (O)Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
Akabonero ka Yona
29 (P)Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona. 30 Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno. 31 (Q)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano. 32 (R)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
Ettaala y’Omubiri
33 (S)“Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba. 34 Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza. 35 Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe. 36 Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
37 (T)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya. 38 (U)Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
39 (V)Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu. 40 (W)Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda? 41 (X)Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
42 (Y)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
43 (Z)“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
44 (AA)“Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”
45 (AB)Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”
46 (AC)Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
47 “Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta. 48 (AD)Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo. 49 (AE)Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’ 50 Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, 51 (AF)okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
52 (AG)“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
53 Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako, 54 (AH)nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.
Birudaadi Addamu
25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,
2 (A)“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
3 (B)Amaggye ge gasobola okubalibwa?
Ani atayakirwa musana gwe?
4 (C)Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
5 (D)Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
6 (E)Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”
Yobu Ayanukula
26 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (F)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
3 Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
4 Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?
5 (G)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
6 (H)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
7 (I)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
awanika ensi awatali kigiwanirira.
8 (J)Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
9 (K)Abikka obwenyi bw’omwezi,
agwanjululizaako ebire bye.
10 (L)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (M)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (N)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (O)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu
12 (A)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 2 (B)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 3 (C)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4 (D)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5 Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 6 (E)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.
7 (F)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 8 (G)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 9 (H)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (I)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (J)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.
Omubiri guli gumu naye ebitundu byagwo bingi
12 (K)Kuba omubiri nga bwe guli ogumu, ne guba n’ebitundu bingi, ate ebitundu byonna ne byegatta ne biba omubiri gumu, kale, ne Kristo bw’ali bw’atyo. 13 (L)Bwe tutyo ffenna twabatizibwa mu Mwoyo omu, ne tufuuka omubiri gumu, oba Bayudaaya, oba baamawanga, oba baddu, oba ba ddembe, era ne tunywa ku Mwoyo oyo omu.
14 Kubanga omubiri tegulina kitundu kimu, naye gulina ebitundu bingi. 15 Singa ekigere kigamba nti, “Nze siri mukono, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Siri liiso, noolwekyo siri kitundu kya mubiri,” ekyo kikiggyako okubeera ekitundu ky’omubiri? 17 Kale singa omubiri gwonna gwali liiso, olwo okuwulira kwandibadde wa? Era singa omubiri gwonna gwali kutu, olwo okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 (M)Naye kaakano Katonda yakola ebitundu bingi eby’enjawulo n’alyoka abifuula omubiri gwaffe nga bwe yayagala. 19 Singa byonna byali ekitundu kimu olwo omubiri gwandibadde wa? 20 (N)Naye kaakano ebitundu bingi naye ng’omubiri guli gumu.
21 Eriiso terisobola kugamba mukono nti, “Ggwe sikwetaaga,” oba n’omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Mmwe sibeetaaga.” 22 Era ebitundu ebyo eby’omubiri ebirabika ng’ebisinga obunafu bye byetaagibwa ennyo. 23 Era n’ebitundu ebyo eby’omubiri bye tulowooza obutaba bya kitiibwa bye bisinga okwambazibwa, n’ebitundu ebitukwasa ensonyi bye tusinga okulabirira, 24 so ng’ebitundu byaffe ebisinga okwolekebwa mu bantu tebikyetaaga. Bw’atyo Katonda bwe yakola omubiri, ebitundu ebyandibadde biragajjalirwa n’abyongera ekitiibwa, 25 olwo omubiri ne guteeyawulamu naye ebitundu byonna, ne biyambagana byokka ne byokka. 26 Ekitundu ekimu bwe kirumwa, ebitundu ebirala byonna birumirwa. Era ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonna bijaguliza wamu nakyo.
27 (O)Kale mwenna awamu muli mubiri gwa Kristo, era buli omu ku mmwe kitundu kyagwo. 28 (P)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi. 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 (Q)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi? 31 (R)Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu, naye ka mbalage ekkubo eddungi erisinga gonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.