Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 48

Yakobo Asabira Batabani ba Yusufu Omukisa

48 (A)Oluvannyuma Yusufu n’ategeezebwa nti, “Laba, kitaawo mulwadde.” Bw’atyo n’atwala batabani be Manase ne Efulayimu; Yakobo n’ategeezebwa nti, “Mutabani wo azze okukulaba.”

Awo Yakobo ne yeekakaba ku kitanda kye n’atuula. (B)N’agamba Yusufu nti, “Katonda Ayinzabyonna yandabikira e Luzi mu nsi ya Kanani n’ampa omukisa. (C)N’aŋŋamba nti, ‘Laba, ndikwaza n’osukkirira ne nkufuula abantu abangi, era ensi eno ndigiwa ezzadde lyo okuba obutaka bwabwe ennaku zonna.’

(D)“Kale kaakano batabani bo bombi abaakuzaalirwa mu Misiri nga sinnajja, bange; Efulayimu ne Manase baliba bange nga Lewubeeni ne Simyoni bwe bali. N’abo abaakuzaalirwa oluvannyuma lwabwe baliba babo, banaayitibwa amannya ga baganda baabwe mu mugabo gwabwe. (E)Kubanga bwe najja ng’ava e Paddani, ne ndaba ennaku Laakeeri n’anfiirako mu kkubo mu nsi ya Kanani, nga nkyagenda Efulasi; ne mmuziika eyo mu kkubo erigenda Efulasi, ye Besirekemu.”

Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”

(F)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”

N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”

10 (G)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.

11 (H)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”

12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (I)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (J)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.

15 (K)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,

“Katonda wa jjajjange
    Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
    okutuusa leero,
16 (L)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
    owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
    era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
    mu maaso g’ensi.”

17 (M)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”

19 (N)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (O)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,

“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
    ‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”

Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.

21 (P)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (Q)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”

Lukka 1:39-80

Maliyamu Akyalira Erisabesi

39 (A)Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40 N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41 Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 42 (B)Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43 Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44 Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45 Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”

Oluyimba lwa Maliyamu

46 (C)Maliyamu n’agamba nti,

47 (D)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
    N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (E)Kubanga alabye
    obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49     (F)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
    N’erinnya lye ttukuvu.
50 (G)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
    eri abo abamutya.
51 (H)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
    Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
    n’agulumiza abawombeefu.
53 (I)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
    Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (J)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
    n’ajjukira okusaasira,
55 (K)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
    eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

56 Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.

Okuzaalibwa kwa Yokaana

57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.

59 (L)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (M)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”

61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”

62 (N)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (O)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (P)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (Q)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (R)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.

Oluyimba lwa Zaakaliya

67 (S)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,

68 (T)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
    kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (U)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
    mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (V)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
    n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (W)okulaga bajjajjaffe ekisa,
    n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73     (X)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (Y)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
    tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75     (Z)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

76 (AA)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
    kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (AB)Okumanyisa abantu be obulokozi,
    obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (AC)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
    Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (AD)okwakira abo abatudde mu kizikiza
    ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”

80 (AE)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.

Yobu 14

14 (A)“Omuntu azaalibwa omukazi,
    abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
(B)Amulisa ng’ekimuli n’awotoka;
    abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
(C)Otunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
    Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
(D)Ani ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
    Tewali n’omu!
(E)Ennaku z’omuntu zaagererwa,
    wagera obungi bw’emyezi gye
    era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
(F)Kale tomufaako muleke yekka,
    okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.

“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
    Bwe gutemebwa, guloka nate,
    era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
    era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
    ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 (G)Naye omuntu afa era n’agalamizibwa,
    assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 (H)Ng’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
    oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 (I)bw’atyo omuntu bw’agalamira,
    era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
    abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

13 (J)“Singa kale onkweka emagombe
    era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
    n’onzijukira!
14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
    Ennaku zange zonna ez’okuweereza
    nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15 (K)Olimpita nange ndikuyitaba;
    olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16 (L)Ddala ku olwo bw’olibala ebigere byange,
    naye tolyekaliriza bibi byange.
17 (M)Ebisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;
    olibikka ku kibi kyange.

18 “Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,
    era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19 (N)ng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja
    era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;
    bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
20 Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;
    okyusa enfaanana ye n’omugoba.
21 (O)Abaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,
    bwe bagwa, takiraba.
22 Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira
    ne yeekungubagira yekka.”

1 Abakkolinso 2

(A)Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli. (B)Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa. (C)Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo. (D)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu, (E)okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.

Amagezi ga Katonda

(F)Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (G)tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (H)Naye nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Eriiso bye litalabangako,
    n’okutu bye kutawulirangako,
n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako
    Katonda bye yategekera abo abamwagala.”

10 (I)Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda. 11 (J)Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda. 12 (K)Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, 13 (L)era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo. 14 (M)Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo. 15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.

16 (N)“Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama,
    era ani alimulagira?

Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.