Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Okuva 7

(A)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Laba, nkufudde nga Katonda awali Falaawo, ne muganda wo Alooni y’ajja okubeera nnabbi wo. Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye. (B)Naye ndikakanyaza omutima gwa Falaawo; ne bwe ndikolera ebyamagero ebingi ennyo mu nsi y’e Misiri, (C)tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna. (D)Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”

Omuggo gwa Alooni Gufuuka Omusota

(E)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. (F)We baayogerera ne Falaawo, Musa yali aweza emyaka kinaana egy’obukulu, ne Alooni ng’aweza emyaka kinaana mu esatu. Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, (G)“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”

10 Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 11 (H)Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13 (I)Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.

Amazzi Gafuuka Omusaayi

14 (J)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira[a]. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 (K)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 (L)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (M)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”

19 (N)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”

20 (O)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.

22 (P)Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.

25 Awo ne wayitawo ennaku musanvu okuva ku lunaku Mukama lwe yakubirako omugga.

Lukka 10

Yesu Atuma Abayigirizwa Ensanvu

10 (A)Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri[a], n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka. (B)N’abagamba nti, “Eby’okukungula bingi, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye. (C)Kale, mugende. Kyokka mbatuma ng’abaana b’endiga mu misege. Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gw’engatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo.

“Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’ Ennyumba eyo bw’eneebangamu omuntu ow’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye, bwe kitaabenga bwe kityo, emirembe gyammwe ginaabaddiranga. (D)Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala.

(E)“Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya. (F)Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10 Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, 11 (G)‘N’enfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12 (H)Mbategeeza nti ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.

13 (I)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza. 14 Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango. 15 (J)Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe.

16 (K)“Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, n’oyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”

17 (L)Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”

18 (M)Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu! 19 (N)Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. 20 (O)Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”

21 (P)Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.

22 (Q)“Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”

23 Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba. 24 (R)Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”

Omusamaliya Omulungi

25 (S)Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”

27 (T)Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

28 (U)Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.”

29 (V)Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”

30 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko, n’agwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ng’abulako katono okufa. 31 (W)Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako. 32 Omuleevi naye yamutuukako n’amulaba, n’adda ku ludda olulala olw’oluguudo, n’amuyitako buyisi 33 (X)Naye Omusamaliya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, n’atuuka omusajja we yali; bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, 34 n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba. 35 Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”

36 “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?”

37 Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.”

Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”

Yesu Akyalira Maliza ne Maliyamu

38 (Y)Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge. 39 (Z)Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera. 40 (AA)Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?”

41 (AB)Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, “Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi, 42 (AC)naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako.”

Yobu 24

24 (A)“Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
    Lwaki abo abamumanyi tebalaba nnaku zaageze?
(B)Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
    ne balunda ebisolo bye babbye.
(C)Batwala endogoyi ya mulekwa
    ne batwala ennume ya nnamwandu ng’omusingo.
(D)Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
    ne bawaliriza abaavu bonna mu ggwanga okwekweka.
(E)Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
    n’abaavu bagenda bategana nnyo nga balondalonda obumere;
    mu ddungu mwe balonderera emmere y’abaana baabwe.
Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
    ne banoga n’emizabbibu gy’aboonoonyi.
(F)Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
    tebalina kye beebikka mu mpewo.
(G)Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
    ne banywegera enjazi olw’okubulwa we beggama.
(H)Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
    omwana omuwere ow’omwavu bamuwamba olw’ebbanja.
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
    betikka ebinywa by’emmere naye basigala tebalidde.
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
    ne basambira mu ssogolero, naye ne basigala nga balumwa ennyonta.
12 (I)Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
    n’emmeeme z’abafunye ebisago zikaabira obuyambi.
    Naye Katonda talina gw’asinzisa musango.

13 (J)“Waliwo abo abajeemera omusana,
    abatamanyi makubo ge,
    abatasigala mu kwaka kwagwo.
14 (K)Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
    n’atta omwavu n’ali mu kwetaaga;
    ekiro abbira ddala.
15 (L)Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
    ng’agamba nti, ‘Tewali liiso linandaba,’
    n’abikka ne ku maaso ge.
16 (M)Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
    kyokka emisana baba beggalidde.
    Tebaagala kitangaala.
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
    Kubanga bakola omukwano n’ebitiisa eby’omu nzikiza.
18 (N)Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
    era omugabo gwabwe mukolimire mu nsi.
    Tewali musogozi n’omu alaga mu nnimiro zaabwe ez’emizabbibu.
19 (O)Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
    aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe.
20 (P)Olubuto lunaamwerabiranga;
    envunyu eneemulyanga n’ewoomerwa.
Tajjukirwenga nate,
    omukozi w’ebibi amenyeka ng’omuti.
21 (Q)Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
    Tebakolera nnamwandu bya kisa.
22 (R)Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
    Newaakubadde nga bakulaakulana, kyokka tebalina bukakafu ku bulamu bwabwe.
23 (S)Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
    n’amaaso ge gabeera ku makubo gaabwe.
24 (T)Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
    Bakkakkanyizibwa ne bakala ne baggyibwawo nga abalala bonna.
    Basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.

25 (U)“Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,
    n’afuula okwogera kwange okutaliimu?”

1 Abakkolinso 11

11 (A)Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Okubikka ku mutwe mu kusinza

(B)Mbatenda nnyo Olw’okunzijjukiza mu bintu byonna era n’olw’okunyweza ebyo bye nabayigiriza. (C)Kyokka njagala mutegeere nti Kristo ye mutwe gwa buli muntu, n’omusajja gwe mutwe gwa mukazi we. Era Katonda ye mutwe gwa Kristo. Noolwekyo omusajja yenna bw’asaba oba bw’ayogera eby’obunnabbi nga taggyeko kibikka ku mutwe gwe, aba aswaza omutwe gwe. (D)N’omukazi bw’asaba oba n’ayogera eby’obunnabbi nga tabisse mutwe gwe aba tawadde bba kitiibwa kubanga kyekimu n’oyo amwereddwako enviiri. Obanga omukazi tayagala kubikka ku mutwe gwe, kale enviiri ze azisalengako. Naye obanga omukazi kimuswaza enviiri ze okuzisalako oba okuzimwako, kale ateekwa omutwe gwe okugubikkangako. (E)Omusajja tasaana kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi n’ekitiibwa kya Katonda; naye omukazi ye ky’ekitiibwa ky’omusajja. (F)Kubanga omusajja teyatondebwa ng’aggibwa mu mukazi, wabula omukazi ow’olubereberye ye yaggyibwa mu musajja. (G)Era omusajja teyatondebwa lwa mukazi, wabula omukazi ye yatondebwa olw’omusajja. 10 Kale olw’ensonga eyo, omukazi kimusaanira okubikkanga ku mutwe gwe, okulaga nti afugibwa era ne bamalayika bakirabe. 11 Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. 12 (H)Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

13 Kale nammwe bennyini mwebuuze obanga kisaana omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe. 14 Obuzaaliranwa tebubalaga ng’omusajja bw’aba n’enviiri empanvu tekimuweesa kitiibwa, 15 ate ng’omukazi ye zimuweesa kitiibwa? Kubanga yaweebwa enviiri empanvu okumubikkako. 16 (I)Naye obanga waliwo ayagala okuwakanya bino, tetulinaayo nkola nga eyo, wadde mu Kkanisa za Katonda.

Ekyekiro kya Mukama waffe

17 (J)Mu bino bye ŋŋenda okubalagira temuli kya kubatenda, kubanga enkuŋŋaana zammwe zivaamu bibi okusinga ebirungi. 18 (K)Ekisooka bwe mukuŋŋaana ng’ekibiina, mwesalaasalamu ebitundu, era nzikiriza ng’ebimu ku ebyo bituufu. 19 (L)Naye okwesalaasalamu okwo kusaana kubeewo abatuufu balyoke bategeerekeke. 20 Bwe mukuŋŋaana ekyo kye mulya si kye kyekiro kya Mukama waffe. 21 (M)Kubanga bwe muba mulya buli omu alya ku lulwe, talinda banne. Abamu basigala bakyali bayala, ng’abalala bo batamidde.

22 (N)Temulina wammwe gye muyinza okuliira n’okunywera? Oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abaavu? Mbagambe ki? Mbatende olw’ekyo? Nedda na katono, sijja kubatenda. 23 (O)Kubanga Mukama yennyini kye yampa ky’ekyo kye nabayigiriza nti, Mukama waffe Yesu, mu kiro kiri kye baamuliiramu olukwe, yaddira omugaati, 24 ne yeebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’agamba nti, “Guno mubiri gwange, oguweebwayo ku lwammwe, mugutoole mulye, mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.” 25 (P)Era mu ngeri y’emu bwe baamala okulya, yaddira ekikompe n’agamba nti, “Ekikompe kino y’endagaano empya ekoleddwa Katonda nammwe, ekakasiddwa n’omusaayi gwange, mutoole munywe, mukolenga bwe mutyo buli lwe munaakinywangako okunzijukiranga.” 26 Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

27 (Q)Noolwekyo buli alya omugaati guno oba anywa ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde, azza omusango ku mubiri gwa Mukama waffe, ne ku musaayi gwe. 28 (R)Noolwekyo omuntu amalenga kwekebera, alyoke alye ku mugaati n’okunywa ku kikompe. 29 Kubanga buli alya era anywa nga tafaayo kutegeera makulu ga mubiri gwa Mukama waffe, aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. 30 Mu mmwe kyemuvudde mubaamu abanafu n’abalwadde, era bangi bafudde. 31 (S)Naye singa tusooka okwekebera, tetwandisaliddwa musango kutusinga. 32 (T)Kyokka Mukama bw’atusalira omusango aba atukangavvula tuleme kusalirwa musango awamu n’ensi. 33 Kale baganda bange, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya, buli omu alinde munne. 34 (U)Era singa wabaawo alumwa enjala amale okulya eka, bwe mukuŋŋaana muleme kwereetako musango. N’ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.