Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 49-53

Omuweereza wa Mukama

49 (A)Mumpulirize mmwe ebizinga,
    mmwe muwulire kino amawanga agali ewala.
Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita.
    Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
(B)Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi,
    nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.
Yanfuula akasaale akazigule
    era nankweka mu mufuko gwe.
(C)Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri,
    mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
(D)Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere,
    amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa.
Kyokka ate Mukama yannamula,
    n’empeera yange eri ne Katonda wange!”

(E)Era kaakano Mukama ayogera,
    oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we,
okukomyawo Yakobo gy’ali
    era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali.
Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama
    era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
(F)Mukama agamba nti,
“Eky’okubeera omuweereza wange
    n’okuzza amawanga ga Yakobo
    era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo.
Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga,
    olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”

(G)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
    Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
    eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
    abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
    oyo akulonze.”

Isirayiri Azzibwawo

(H)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
    ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
    muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
(I)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
    n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’

“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
    ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 (J)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
    ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
    anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 (K)Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
    era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 (L)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
    abamu, baliva mu bukiikakkono
    n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”

13 (M)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
    Muyimbe mmwe ensozi!
    Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
    era Mukama wange anneerabidde.”

15 (N)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
    n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
    naye nze sirikwerabira.
16 (O)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
    ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (P)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
    era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (Q)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
    Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
    balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
    ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 (R)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
    kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
    banaakubeeranga wala.
20 (S)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
    lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
    tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (T)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
    ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
    Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
    Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
    naye ate bano, baava wa?’ ”

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 (U)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
    era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
    ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (V)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

24 (W)Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi,
    oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?

25 (X)Naye bw’ati bw’ayogera Mukama:

“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
    n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
    era ndirokola mponye abaana bo.
26 (Y)Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
    Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
    Omununuzi wo,
    ow’Amaanyi owa Yakobo.”

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

50 (Z)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?
    Oba nabatunda eri ani?
Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;
    olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
(AA)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
    Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
    Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
    emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
    ne bivunda olw’okubulwa amazzi.
(AB)Nyambaza eggulu,
    n’ekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.”

(AC)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
    oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
    buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
(AD)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
    ne siba mujeemu.
    Sizzeeyo mabega.
(AE)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
    n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
    n’eri abo abanfujjira amalusu.
(AF)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
    kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
    era mmanyi nti siriswazibwa.
(AG)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
    Ani alinnumiriza omusango?
    Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
    Ajje annumbe.
(AH)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
    Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
    ennyenje ziribalya.

10 (AI)Ani ku mmwe atya Mukama,
    agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
    atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
    era yeesigame ku Katonda we.
11 (AJ)Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro,
    ne mwekoleereza ettaala z’omuliro,
mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,
    ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza.
Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange;
    muligalamira mu nnaku.

Okukubirizibwa Okwesiga Katonda

51 (AK)“Mumpulirize,
    mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama:
Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako,
    n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
(AL)Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe
    ne Saala eyabazaala.
Kubanga we namuyitira yali bw’omu
    ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
(AM)Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni;
    akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika
era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni,
    n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama;
Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo,
    okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.

(AN)“Mumpulirize, mmwe abantu bange;
    era muntegere okutu mmwe ensi yange.
Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,
    obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
(AO)Obutuukirivu bwange
    busembera mangu nnyo,
    obulokozi bwange buli mu kkubo.
Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga.
    Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
(AP)Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
    mutunuulire ensi wansi!
Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka
    n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.
    Abagituulamu balifa ng’ensowera.
Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,
    so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.

(AQ)“Mumpulirize,
    mmwe abamanyi obutuukirivu,
eggwanga eririna amateeka gange
    mu mitima gyammwe.
Temutya kuvumibwa bantu
    wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
(AR)Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo.
    N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga.
Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna.
    Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”

(AS)Zuukuka,
    zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda.
Kozesa amaanyi go otuyambe.
    Gakozese nga edda.
Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi?
    Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 (AT)Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja,
    amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo
ne gafuuka ekkubo
    abantu be wanunula bayitewo?
11 (AU)N’abo Mukama be wawonya
    balikomawo
    ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.
Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.
    Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Mukama Alinunula Abantu be

12 (AV)“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.
    Mmwe baani abatya omuntu alifa,
    n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 (AW)ne weerabira Mukama Omutonzi wo
    eyabamba eggulu,
    n’ateekawo n’emisingi gy’ensi,
ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya
    obusungu bw’abo abakunyigiriza,
    oyo eyemalidde mu kuzikiriza?
Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14     (AX)Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa,
tebalifiira mu bunnya,
    era tebalibulwa mmere gye balya.
15 (AY)Kubanga nze Mukama Katonda wo,
    asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma:
    Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 (AZ)Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
    era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.
Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;
    era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,
    ‘Muli bantu bange!’ ”

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17 (BA)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
    eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
    ekibya ekitagaza.
18 (BB)Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala
    tewali n’omu wa kumukulembera.
Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza
    tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 (BC)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
    ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
    ani anaakubeesabeesa?
20 (BD)Batabani bo bazirise,
    bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
    ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
    n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.

21 (BE)Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 (BF)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
    Katonda wo alwanirira abantu be.
“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa
    olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.
Temuliddayo
    kukinywa nate.
23 (BG)Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti,
    ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’
Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka,
    ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (BH)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
(BI)Weekunkumuleko enfuufu,
    yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere mu bulago bwo,
    ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.

(BJ)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mwatundibwa bwereere
    era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”

(BK)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,

“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
    oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.

(BL)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?

“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
    era abo ababafuga babasekerera,”
    bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
    livvoolebwa olunaku lwonna.
(BM)Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
    Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
(BN)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
    alangirira emirembe,
    aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
    agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
(BO)Wuliriza!
    Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
    Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
(BP)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.
10 (BQ)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11 (BR)Mugende, mugende muveewo awo.
    Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
    mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 (BS)Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
    so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
    Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.

Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama

13 (BT)Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,
    aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,
    endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,
    era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 (BU)bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
    bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
    era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
53 (BV)Ani akkiriza ebigambo byaffe,
    era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
(BW)Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu
    era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu.
Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali;
    tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
(BX)Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.
    Tetwayagala na kumutunulako,
ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,
    bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

(BY)Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,
    obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.
Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe
    kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
(BZ)Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
    Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
    Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Ffenna twawaba ng’endiga;
    buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
    obutali butuukirivu bwaffe ffenna.

(CA)Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
    naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
    era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
    bw’atyo bwe yasirika.
(CB)Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
    Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
    ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
(CC)Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
    n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
    wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 (CD)Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
    era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
    era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 (CE)Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
    bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
    era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 (CF)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
    era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
    n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
    era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.