Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Obadiya

(A)Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.

Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.

Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,
    Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,
“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”

“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
    era olinyoomererwa ddala.
(B)Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,
    mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,
    era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.
Mmwe aboogera nti,
    ‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
(C)Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu
    era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,
    ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
    bw’ayogera Mukama.
(D)“Singa ababbi babajjira,
    n’abanyazi ne babalumba ekiro,
akabi nga kaba kabatuuseeko.
    Tebandibabbyeko byonna bye baagala?
Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,
    tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
Esawu alinyagulurwa,
    eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
(E)Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,
    Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;
abo abalya emmere yo balikutega omutego,
    balikutega omutego kyokka toliguvumbula.

(F)“Ku lunaku olwo,
    sirizikiriza bagezi b’e Edomu,
    abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
(G)“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,
    era na buli muntu mu nsozi za Esawu
    alittibwa.
10 (H)Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,
    oliswazibwa.
    Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 (I)Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,
    nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,
ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,
    ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,
    wali omu ku bo.
12 (J)Tosaanye kusekerera muganda wo
    mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
    olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
    ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 (K)Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange
    ku lunaku kwe baalabira obuyinike,
wadde okubasekerera
    ku lunaku kwe baabonaabonera,
newaakubadde okutwala obugagga bwabwe
    ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 Temulindira mu masaŋŋanzira
    okutta abo abadduka,
wadde okuwaayo abawonyeewo
    mu biro eby’okulabiramu ennaku.

15 (L)“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira
    amawanga gonna omusango.
Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.
    Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 (M)Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu
    n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;
balikinywa,
    babe ng’abataganywangako.
17 (N)Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,
    kubanga lutukuvu,
n’ennyumba ya Yakobo
    eritwala omugabo gwabwe.
18 (O)Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,
    n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.
Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,
    era baligyokya n’eggwaawo.
Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu
    n’omu alisigalawo,
kubanga Mukama akyogedde.

19 (P)“Abantu b’e Negebu balitwala
    olusozi Esawu,
n’abantu ab’omu biwonvu balitwala
    ensi y’Abafirisuuti.
Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,
    ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 (Q)Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,
    balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;
abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,
    balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 (R)Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,
    okufuga ensozi za Esawu.
    Obwakabaka buliba bwa Mukama.”

Zabbuli 82-83

Zabbuli ya Asafu.

82 (A)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(B)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(C)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(D)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(E)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(F)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(G)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (H)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(I)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(J)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(K)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(L)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(M)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(N)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(O)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(P)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (Q)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (R)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (S)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (T)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (U)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (V)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (W)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (X)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (Y)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.