Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 111-118

111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(A)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(C)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(E)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(F)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (H)Mutendereze Mukama![a]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(I)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(J)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(K)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(L)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(M)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(N)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 (O)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (P)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(Q)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(R)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(S)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(T)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(U)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(V)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(W)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(X)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!
114 (Y)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(Z)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(AA)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(AB)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (AC)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

(AD)Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
(AE)Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
(AF)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(AG)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (AH)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (AI)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 (AJ)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 (AK)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 (AL)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (AM)Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (AN)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!
116 (AO)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(AP)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(AQ)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(AR)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(AS)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(AT)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(AU)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(AV)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(AW)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (AX)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (AY)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (AZ)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (BA)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (BB)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (BC)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (BD)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (BE)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.
117 (BF)Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna;
    mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
(BG)Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli;
    n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.

Mutendereze Mukama.
118 (BH)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(BI)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
Abo abatya Mukama boogere nti,
    “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

(BJ)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
    n’annyanukula, n’agimponya.
(BK)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
    Abantu bayinza kunkolako ki?
(BL)Mukama ali nange, ye anyamba.
    Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.

(BM)Kirungi okwesiga Mukama
    okusinga okwesiga omuntu.
(BN)Kirungi okuddukira eri Mukama
    okusinga okwesiga abalangira.
10 (BO)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
    naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (BP)Banneebungulula enjuuyi zonna;
    naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (BQ)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
    naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
    mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (BR)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
    naye Mukama n’annyamba.
14 (BS)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (BT)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (BU)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (BV)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (BW)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (BX)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (BY)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (BZ)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
    Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.

26 (CA)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
    Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (CB)Mukama ye Katonda,
    y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
    kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.

28 (CC)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
    ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.

29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.