Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 3-4

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(A)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(B)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(C)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(D)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(E)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(F)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(G)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(H)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
    Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
    Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

(I)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
    Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
(J)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
    Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

(K)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
    mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
(L)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

(M)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
    otumulisize omusana gw’amaaso go.”
(N)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
    erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

(O)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
    kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
    ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Zabbuli 12-13

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
    Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
(I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
    n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
    Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?

(J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
    onzizeemu amaanyi nneme okufa.
(K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
    abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.

(L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
(M)Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga ankoledde ebirungi.

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(C)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(F)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli 55

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(E)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (K)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
    n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
    ndaajana nga bwe nsinda;
    n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
    nga siriiko kintuseeko
    newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
    aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
    era abatatya Katonda.

20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
    n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
    so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
    so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
    ajja kukuwanirira;
    kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
    olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
    tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.