Chronological
19 Yowaabu n’ategeezebwa nti, “Kabaka akaaba era akungubagira Abusaalomu.” 2 Ku lunaku olwo obuwanguzi ne bufuuka okukungubaga eri abantu bonna, kubanga baawulira nti, “Kabaka anakuwadde olwa mutabani we.” 3 Abantu ne bebbirira ne bayingira mu kibuga, ng’abantu abakwatiddwa ensonyi bwe bafaanana nga badduse mu lutalo. 4 Kabaka n’abikka amaaso ge n’akaaba n’eddoboozi ddene nti, “Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!”
5 Awo Yowaabu n’alaga mu nnyumba kabaka gye yali n’amugamba nti, “Leero oswazizza abaweereza bo, abawonyezza obulamu bwo, n’obulamu bwa batabani bo ne bawala bo, n’obulamu bwa bakyala bo n’abazaana bo. 6 Oyagala abakukyawa ate n’okyawa abakwagala. Leero okikakasizza ng’abaduumizi n’abaweereza si kintu gy’oli. Era kindabikira nga singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe ffenna nga tufudde leero, wandisanyuse. 7 (A)Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gy’abaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”
8 (B)Awo kabaka n’agolokoka, n’addira entebe ye n’agiteeka mu mulyango ogwa wankaaki, bonna ne bajja gy’ali.
Dawudi Addayo e Yerusaalemi
Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baali baddukidde buli muntu ewuwe. 9 (C)Abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri baali bakaayana nga boogera nti, “Kabaka yatuwonya mu mukono gw’abalabe baffe, n’atuwonya ne mu mukono gw’Abafirisuuti, kaakano adduse Abusaalomu n’ava mu nsi. 10 Naye Abusaalomu gwe twalonda okutufuga afiiridde mu lutalo. Kaakano kiki ekitulobera okukomyawo kabaka?”
11 (D)Awo kabaka Dawudi n’atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Mubuuze abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka mu lubiri lwe, ebigambo nga byatuuse dda ku kabaka okuva mu Isirayiri yenna? 12 Mmwe muli baganda bange, mubiri gwange era musaayi gwange, naye lwaki mmwe musembayo okukomyawo kabaka?’ 13 (E)Ate mugambe ne Amasa nti, ‘Toli mubiri gwange era musaayi gwange? Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo, bw’otobeere muduumizi wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva ne kaakano.’ ”
14 N’awamba emitima gy’abantu bonna aba Yuda ne baba omuntu omu, ne baweereza obubaka eri kabaka nti, “Mukomeewo, ggwe n’abaweereza bo bonna.” 15 (F)Awo kabaka n’addayo n’atuuka ku Yoludaani. Abantu ba Yuda ne bajja e Girugaali okusisinkana kabaka, n’okumusomosa Yoludaani. 16 (G)Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu n’aserengeta mangu n’abasajja ba Yuda okusisinkana kabaka Dawudi. 17 (H)Yagenda n’Ababenyamini lukumi, ne Ziba omuddu w’ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n’abaweereza be amakumi abiri. Ne banguwa okulaga ku Yoludaani kabaka gye yali. 18 Ne basomosa ennyumba ya Dawudi, era ne bakola ng’okusiima kwe bwe kwali.
Awo Simeeyi mutabani wa Gera n’asomoka Yoludaani, n’agwa bugazi mu maaso ga kabaka, 19 (I)n’amwegayirira ng’agamba nti, “Mukama wange ansonyiwe, aleme okujjukira ebisobyo bye nakola ku lunaku luli, mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi. Kabaka aleme okukijjukira. 20 Kubanga nze omuweereza wo mmanyi nga nayonoona, naye leero mu nnyumba eya Yusufu nze nsoose okujja okusisinkana mukama wange kabaka.”
21 (J)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’ayogera nti, “Lwaki Simeeyi tattibwa olw’okukolimira omulonde wa Mukama?” 22 (K)Naye Dawudi n’amuddamu nti, “Kiki ekitugatta nze nammwe batabani ba Zeruyiya, mulyoke mufuuke abalabe bange olwa leero? Lwaki omuntu yenna attibwa mu Isirayiri olwa leero, ate nga mmanyi nga nze kabaka wa Isirayiri leero?” 23 (L)Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Tojja kufa.” Era kabaka n’amulayirira.
24 (M)Mefibosesi muzzukulu wa Sawulo naye n’aserengeta okusisinkana kabaka; yali tanaabanga bigere bye newaakubadde okumwa ekirevu kye newaakubadde okwoza engoye ze, okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 25 (N)Awo bwe yatuuka okuva e Yerusaalemi n’asisinkana kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Kiki ekyakulobera okugenda nange Mefibosesi?”
26 (O)N’addamu nti, “Mukama wange, kabaka, okimanyi nga omuweereza wo mulema. Nagamba omuddu wange nti, ‘Ntekerateekera endogoyi, njebagale, ŋŋende ne kabaka,’ naye n’ambuzaabuza, n’abulawo. 27 (P)Yajja eri mukama wange kabaka n’ayogera ku muddu wo ebya kalebule. Naye mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda, noolwekyo kola nga bw’osiima. 28 (Q)Ab’ennyumba ya jjajjange bonna baali basaanira kufa bufi mu maaso ga mukama wange kabaka, naye nange n’omala gansaasira n’onzikiriza okuba ku abo abatuula ku mmeeza yo. Kale kiki kye sifunye okuva eri kabaka?”
29 Awo kabaka n’amugamba nti, “Lwaki weeyongera okweyogerako? Ndagidde kaakano, ggwe ne Ziba mugabane ettaka eryo.” 30 Mefibosesi n’agamba kabaka nti, “Atwale lyonna, kubanga mukama wange kabaka akomyewo mirembe mu bwakabaka bwe.”
31 (R)Baluzirayi Omugireyaadi naye n’aserengeta okuva e Logerimu n’agenda okusomosa kabaka, Yoludaani. 32 (S)Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo. 33 Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, n’akulabiriranga.”
34 Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi? 35 (T)Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka? 36 Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo. 37 (U)Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”
38 Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”
39 (V)Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe. 40 Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.
41 (W)Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”
42 Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”
43 (X)Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?”
Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.
Seba Ajeemera Dawudi
20 (Y)Waaliwo omusajja omujeemu erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini. Yafuuwa ekkondeere n’ayogerera n’eddoboozi ery’omwanguka nti,
“Tetulina mugabo mu Dawudi,
so tetulina busika mu mutabani wa Yese!
Buli muntu adde mu weema ye, ggwe Isirayiri!”
2 Awo abantu ba Isirayiri bonna ne balekulira Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Naye abantu ba Yuda bo ne basigala ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi. 3 (Z)Dawudi bwe yadda mu lubiri lwe e Yerusaalemi, n’addira abakyala be ekkumi be yali alese okulabirira olubiri n’abasibira mu kkomera. N’abagabirira mu byokulya kwabwe, naye n’atebaka nabo. Ne baggalirwa eyo okutuusa lwe baafa, nga bali nga bannamwandu.
4 (AA)Awo kabaka n’agamba Amasa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja ba Yuda mu nnaku ssatu, naawe obeerewo.” 5 Naye Amasa bwe yagenda okukola ky’alagiddwa, n’atwala ekiseera kiwanvu okusinga kabaka kye yali amuwadde. 6 (AB)Dawudi n’agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli alitukola akabi okusinga Abusaalomu bwe yakola. Noolwekyo twala abasajja ba mukama wo omugoberere aleme okuddukira mu bibuga ebiriko bbugwe, n’atusimatuka.” 7 (AC)Awo abasajja ba Yowaabu, n’Abakeresi, n’Abaperesi, n’abaserikale abazira bonna, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda okunoonya Seba mutabani wa Bikuli nga baduumirwa Abisaayi.
8 (AD)Bwe baatuuka ku lwazi olunene mu Gibyoni, Amasa n’ajja okubasisinkana. Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby’olutalo, ne mu kiwato nga yeesibye olukoba olwaliko ekitala ekyali mu kiraato kyakyo. Bwe yasituka, ne kisowoka mu kiraato kyakyo ne kigwa wansi.
9 Yowaabu n’alamusa Amasa ng’ayogera nti, “Mirembe, muganda wange?” Yowaabu n’akwata Amasa ekirevu n’omukono gwe ogwa ddyo, n’aba nga agenda okumunywegera. 10 (AE)Naye Amasa n’atassaayo mwoyo okwekuuma ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; Yowaabu n’akimufumita mu lubuto, n’ayiwa ebyenda bye wansi. N’atamufumita lwakubiri, Amasa bw’atyo n’afa. Awo Yowaabu ne muganda we Abisaayi ne beeyongera okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
11 Omu ku basajja ba Yowaabu n’ayimirira okumpi n’omulambo gwa Amasa n’ayogera nti, “Buli ayagala Yowaabu, era buli ali ku luuyi lwa Dawudi, agoberere Yowaabu.” 12 (AF)Omulambo gwa Amasa ne gubeera mu musaayi gwe nga gukulukunyirizibwa omwo wakati mu luguudo. Ne wabaawo omusajja eyalaba nga buli eyatuukanga awali omulambo gwa Amasa ng’ayimirira; omusajja oyo n’agusitula n’aguggya mu luguudo n’agutwala ebbali mu nsiko, n’agusuulako olugoye. 13 Awo omulambo gwa Amasa bwe gwaggyibwa mu kkubo abantu bonna ne beeyongerayo ne Yowaabu okugoberera Seba mutabani wa Bikuli.
14 (AG)Seba n’ayita mu bika byonna ebya Isirayiri ng’abakunga okutuuka mu Aberi eky’e Besumaaka, n’ayita ne mu kitundu kyonna eky’Ababeri ne bakuŋŋaanira gy’ali ne bamugoberera. 15 (AH)Eggye lyonna eryali ne Yowaabu, ne bazingiza Seba mu Aberi eky’e Besumaaka. Ne bakola ebifunvu okutuuka ku kibuga n’okwolekera ekigo. Bwe baali nga bakyamenya bbugwe, 16 (AI)ne wavaayo omukazi ow’amagezi mu kibuga, n’akoowoola ng’ayogera nti, “Muwulirize. Muwulirize! Mugambe Yowaabu ajje wano, mbeeko kye mmugamba.” 17 Yowaabu n’agenda okumpi ne we yali, omukazi n’amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?”
N’addamu nti, “Nze nzuuyo.”
N’amugamba nti, “Wuliriza omuweereza wo by’anaayogera.”
N’addamu nti, “Mpuliriza.”
18 N’ayongera n’ayogera nti, “Edda baayogeranga nti, ‘Bw’oba ng’olina ky’obuuza genda mu Aberi,’ era ekyo kye ky’amalanga ensonga. 19 (AJ)Ffe bantu abaagazi b’emirembe era abeesigwa mu Isirayiri. Mwagala okuzikiriza ekibuga, nnyina w’abaana mu Isirayiri. Lwaki oyagala okumira obusika bwa Mukama?”
20 Yowaabu n’addamu nti, “Kikafuuwe, nze okumira ekibuga kino newaakubadde okukizikiriza. 21 (AK)Si bwe kiri. Waliwo omusajja erinnya lye ye Seba, mutabani wa Bikuli, ow’omu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, agolodde omukono gwe eri kabaka Dawudi. Bwe munaamuwaayo oyo omu yekka, nange nzija kulekayo okubalumba.”
22 (AL)Omukazi n’agamba Yowaabu nti, “Omutwe gwe gunaakasukibwa gy’oli ku bbugwe.” Awo omukazi n’agenda n’ekiteeso kye eri abantu bonna, ne basalako omutwe gwa Seba mutabani wa Bikuli, ne bagusuulira Yowaabu. Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja be ne bava ku kibuga ne basaasaana, bonna ne baddayo ewaabwe. Yowaabu ye n’addayo eri kabaka mu Yerusaalemi.
23 (AM)Yowaabu yali muduumizi wa ggye lya Isirayiri,
ne Benaya mutabani wa Yekoyaada nga y’akulira Abakeresi, n’Abaperesi.
24 (AN)Adolaamu ye yakuliranga abapakasi,
Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza.
25 (AO)Seva ye yali omuwandiisi,
Zadooki ne Abiyasaali nga be bakabona,
26 ne Ira Omuyayiri nga ye kabona wa Dawudi.
Dawudi Atangirira Abagibyoni
21 (AP)Awo mu mirembe gya Dawudi ne waba enjala okumala emyaka esatu, Dawudi ne yeeyongera nnyo okunoonya Mukama. Mukama n’ayogera nti, “Ennyumba ya Sawulo ejjudde omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.”
2 (AQ)Kabaka n’akuŋŋaanya Abagibyoni[a] n’ayogera gye bali. (Abagibyoni tebaali Bayisirayiri naye baali bakaawonawo ab’oku baana b’Abamoli. Abayisirayiri baali babalayiridde obutabakola kabi, naye Sawulo olw’obuggya bwe yalina n’agezaako okubazikiriza ku lwa Isirayiri ne Yuda.) 3 (AR)Dawudi n’abuuza Abagibyoni nti, “Mbakolere ki? Nnaabatangirira ntya, mmwe okuwa Isirayiri, obusika bwa Mukama omukisa?” 4 (AS)Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Kye twetaaga okuva eri Sawulo oba ennyumba ye, si kigambo kya ffeeza oba zaabu, so tetulina buyinza kutta muntu yenna mu Isirayiri.” Dawudi n’ababuuza nti, “Kiki kye mwagala mbakolere?” 5 Ne baddamu kabaka nti, “Ku lw’omusajja eyatuyigganyanga n’ayagala okutuuzikiriza, ne tubulwako ne we tubeera mu Isirayiri, 6 (AT)tuwe musanvu ku batabani be tubatte tubaanike mu maaso ga Mukama e Gibea ekya Sawulo, omulonde wa Mukama.” Kabaka n’ayogera nti, “Ndibabawa.”
7 (AU)Kabaka n’alekawo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, mutabani wa Sawulo. 8 (AV)Naye kabaka n’addira Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi be yazaalira Sawulo, ne batabani ba Mikali[b] muwala wa Sawulo be yazaalira Abuliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi Sawulo be yalabiriranga bataano, n’abawaayo. 9 (AW)N’abawaayo eri Abagibyoni, ne babatta ne babaanika ku lusozi mu maaso ga Mukama. Bonna omusanvu ne battibwa mu nnaku ezaasooka ez’amakungula nga batandika amakungula ga sayiri.
10 (AX)Lizupa muwala wa Aya n’addira ebibukutu, n’abyaliira ku lwazi, okuva ku ntandikwa ey’amakungula okutuusa enkuba lwe yatonnya okuva mu ggulu, n’ataganya nnyonyi za mu bbanga newaakubadde ensolo enkambwe okulya emirambo gyabwe emisana oba ekiro. 11 Dawudi bwe yategeezebwa, Lizupa omuzaana wa Sawulo, muwala wa Aya, kye yakola, 12 (AY)n’agenda, n’aggya amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani ku bantu ab’e Yabesugireyaadi, Abafirisuuti gye baagawanika, ku lunaku kwe battira Sawulo e Girubowa, abaali bagatutte mu bubba mu kifo ekigazi eky’abantu bonna e Besusani. 13 Dawudi n’aggyayo amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani, n’agakuŋŋaanya n’amagumba g’abo abattibwa ne baanikibwa.
14 (AZ)Ne baziika amagumba ga Sawulo n’aga mutabani we Yonasaani mu ntaana ya Kiisi kitaawe wa Sawulo, e Zeera mu nsi ya Benyamini, ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Oluvannyuma Katonda n’addamu okusaba kw’ensi.
Entalo n’Abafirisuuti
15 (BA)Ne waba nate olutalo wakati w’Abafirisuuti n’Abayisirayiri. Dawudi n’aserengeta n’abasajja be okulwana n’Abafirisuuti, n’akoowa nnyo. 16 Awo Isubibenobu omu ku bazzukulu b’agasajja agawanvu yalina effumu ng’obuzito bw’omutwe gw’alyo kilo ssatu n’ekitundu ng’alina n’ekitala ekiggya, n’ayogera nti agenda okutta Dawudi. 17 (BB)Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’adduukirira Dawudi, n’alumba Omufirisuuti, n’amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayirira nti, “Tokyatabaala naffe ettaala ya Isirayiri ereme okuzikira.”
18 (BC)Bwe waayitawo ebbanga ne wabaawo olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu. Sibbekayi[c] Omukusasi n’atta Safu omu ku bazzukulu b’agasajja gali agawanvu. 19 (BD)Ne wabaawo nate olutalo olulala n’Abafirisuuti e Gobu, Erukanani[d] mutabani wa Yayiri Omubesirekemu n’atta muganda wa Goliyaasi Omugitti eyalina olunyago lw’effumu olwali ng’omuti ogulukirwako engoye.
20 Ne waba olutalo olulala e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo eyalina engalo mukaaga ku buli mukono n’ebigere mukaaga ku buli kigere, byonna awamu abiri mu bina. Era naye yali muzzukulu w’agasajja gali agawanvu ennyo. 21 (BE)Bwe yasoomooza Isirayiri, Yonasaani mutabani wa Simeeya, muganda wa Dawudi, n’amutta.
22 Abo abana baali bazzukulu b’agasajja gali agawanvu ennyo mu Gaasi, era bonna ne bagwa mu mukono gwa Dawudi ne basajja be.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.