Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 7

Ekisuubizo kya Katonda eri Dawudi

(A)Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola. (B)N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.” Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”

Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

(C)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu? (D)Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema. (E)Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

(F)“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. (G)Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi. 10 (H)Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, 11 (I)okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo. 12 (J)Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 (K)Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 (L)Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 (M)Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 (N)Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”

17 Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.

Okusaba kwa Dawudi

18 (O)Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Mukama, n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? 19 (P)Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi Mukama Katonda?

20 (Q)“Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo. 21 Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo.

22 (R)“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe. 23 (S)Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri? 24 (T)Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

25 “Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza, 26 erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘Mukama ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

27 “Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli. 28 (U)Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi. 29 (V)Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”

1 Ebyomumirembe 17

Okusuubiza kwa Mukama eri Dawudi

17 (A)Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”

(B)Nasani n’addamu Dawudi nti, “Ky’olowooza kyonna mu mutima gwo kikole, kubanga Katonda ali wamu naawe.” Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

(C)“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti si gwe ojja okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga. Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala. Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

(D)“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri. Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi. Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye, 10 (E)era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna.

“ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba: 11 Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe. 12 (F)Oyo y’alinzimbira ennyumba, era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe emirembe gyonna. 13 (G)Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka. 14 (H)Ye y’aliba omukulu mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe gyonna, era entebe ye ey’obwakabaka eribeerera emirembe gyonna.’ ”

15 Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa okwo.

Esaala ya Dawudi

16 Awo Kabaka Dawudi n’agenda n’atuula mu maaso ga Mukama n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, era ennyumba yange kye ki, gwe okuntuusa wano? 17 Kino tekyali kitono mu maaso go, okwogera ku bigenda okuba ku nnyumba ey’omuddu wo, n’ontunuulira ng’omu ku basajja abasingirayo ddala ekitiibwa, Ayi Mukama Katonda.

18 “Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo. 19 (I)Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.

20 (J)“Tewaliwo akufaanana, Ayi Mukama, era tewali Katonda mulala wabula ggwe, okusinziira ku bye twewuliridde n’amatu gaffe. 21 (K)Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri? 22 (L)Abantu bo Abayisirayiri wabafuulira ddala babo emirembe gyonna, era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

23 (M)“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna. 24 Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

25 “Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza. 26 Ggwe Ayi Mukama oli Katonda, era osuubizza omuddu wo ebirungi ebyo. 27 (N)Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.