Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Matayo 28

Yesu Azuukira

28 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, ng’obudde bukya, Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu oli omulala ne balaga ku ntaana.

(B)Mu kiseera ekyo ne wabaawo okukankana ng’okwa musisi. Malayika wa Mukama yakka okuva mu ggulu n’ayiringisa ejjinja ne liva mu mulyango gw’entaana, n’alituulako. (C)Amaaso ge gaali gamasamasa ng’okumyansa kw’eraddu, n’ekyambalo kye nga kyeru ekitukula be tukutuku. Abakuumi bwe baamulaba, ne bakankana nga batidde nnyo ne bagwa wansi ne baba ng’abafudde.

(D)Awo malayika n’agamba abakazi nti, “Temutya. Mmanyi nga munoonya Yesu, eyakomererwa, (E)wabula taliiwo wano! Azuukidde mu bafu, nga bwe yagamba. Muyingire mulabe we yali agalamiziddwa. (F)Kale kaakano, mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti, Azuukidde mu bafu, era abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya gye mulimusisinkana. Obwo bwe bubaka bwange bwe muba mubatuusaako.”

Abakazi abo ne badduka embiro nnyingi nga bava ku ntaana kyokka nga batidde nnyo, naye ate nga bajjudde essanyu. Ne bayanguwa mangu okugenda okubuulira abayigirizwa be. (G)Bwe baali bagenda, amangwago Yesu n’ayimirira mu maaso gaabwe! N’abalamusa nti, “Mirembe?” Ne bagwa wansi ne bavuunama mu maaso ge, ne bamukwata ku bigere ne bamusinza. 10 (H)Awo Yesu n’abagamba nti, “Temutya, mugende mugambe abooluganda bagende mangu e Ggaliraaya, gye balindabira.”

Abakuumi bye Baayogera

11 (I)Abakazi bwe baali bagenda mu kibuga, abamu ku bakuumi abaali bakuuma entaana ne bagenda eri bakabona abakulu ne babategeeza byonna ebibaddewo. 12 Awo abakulembeze b’Abayudaaya bonna ne bakuŋŋaana ne bateesa era ne batoola ffeeza na basalawo bagulirire abakuumi. 13 Ne babalagira bagambe nti, “Bwe twali twebase ekiro, abayigirizwa ne bajja ne babba omulambo gwa Yesu ne bagutwala.” 14 (J)Abaali mu lukiiko olwo ne basuubiza abakuumi nti, “Singa ebigambo bino bituuka ku gavana, ffe tujja kumuwooyawooya, tubazibire.” 15 Bwe batyo abaserikale ne balya enguzi, ne bakkiriza okwogera nga bwe baabagamba. Ebigambo byabwe ne bibuna nnyo wonna mu Buyudaaya, n’okutuusa ku lunaku lwa leero.

Okutumibwa mu Nsi yonna

16 (K)Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga. 17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 (L)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 (M)Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. 20 (N)Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”

Makko 16

16 (A)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. (B)Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.

Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. (C)Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!

(D)Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. (E)Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”

Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.

Yesu Alabikira Maliyamu Magudaleene

(F)Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu. 10 Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga. 11 (G)N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!

Yesu Alabikira Abayigirizwa Ababiri

12 (H)Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo. 13 Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.

Yesu Alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n’Omu

14 (I)Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.

15 (J)N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna. 16 (K)Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga. 17 (L)Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya. 18 (M)Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”

Yesu Atwalibwa mu Ggulu

19 (N)Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20 Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.