Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
1 Abakkolinso 5-8

Okugoba owooluganda ow’empisa embi

(A)Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. (B)Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe? (C)Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga. Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe. (D)Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.

(E)Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? (F)Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe. (G)Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.

(H)Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 10 (I)so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 11 (J)Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.

12 (K)Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 13 (L)Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.

(M)Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? (N)Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? (O)Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? (P)Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?

(Q)N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? (R)Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya. (S)Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,[a] 10 newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 11 (T)Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.

Ekibi eky’obwenzi

12 (U)Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 13 (V)Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 14 (W)Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 15 (X)Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 16 (Y)Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 17 (Z)Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.

18 (AA)Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 19 (AB)Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 20 (AC)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Obufumbo

(AD)Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba. (AE)Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. (AF)Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe. (AG)Naye kino nkyogera mu ngeri ya kukkiriziganya so si mu ngeri ya kuwa kiragiro. (AH)Nandyagadde buli omu abeere nga nze; naye buli muntu alina ekirabo ekikye ku bubwe ekiva eri Katonda, omu mu ngeri emu n’omulala mu ngeri endala.

(AI)Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. (AJ)Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.

10 (AK)Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. 11 Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

12 (AL)Abalala njogera gye bali kubanga si tteeka eriva eri Mukama waffe, naye mbagamba nti owooluganda bw’abeera n’omukazi atali mukkiriza ng’ayagala okubeera naye, tamugobanga. 13 Era omukazi omukkiriza alina bba atali mukkiriza naye ng’amwagala, tamuvangako. 14 (AM)Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu. 15 (AN)Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe. 16 (AO)Ggwe omukazi omukkiriza omanyi otya ng’olirokola balo? Oba ggwe omusajja omukkiriza omanyi otya ng’olirokola mukazi wo?

17 (AP)Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. 18 (AQ)Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa. 19 (AR)Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda. 20 (AS)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (AT)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (AU)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (AV)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

Abatali bafumbo ne bannamwandu

25 (AW)Naye ku ky’abatafumbirwanga wadde okuwasa, sirina kiragiro kiva eri Mukama wabula Mukama mu kusaasira kwe yampa amagezi agayinza okwesigibwa kwe nnaasinziira okubawa ekirowoozo kyange. 26 (AX)Kino nkirowooza nga kirungi, olw’embeera eya kaakano, nga kirungi omuntu okusigala nga bw’ali. 27 Obanga oli mufumbo tosaanye kwawukana na munno. Naye obanga wayawukana n’omukazi, tonoonya wa kuwasa. 28 Kyokka omusajja bw’awasa aba tayonoonye, era n’embeerera bw’afumbirwa naye aba tayonoonye. Wabula abafumbo, obufumbo bujja kubaleetera emitawaana gye nandiyagadde mwewale.

29 (AY)Naye kino kye mbategeeza abooluganda nti ekiseera kiyimpawadde. Noolwekyo abo abalina abakazi babe ng’abatabalina. 30 N’abo abakaaba babe ng’abatakaaba, n’abo abasanyuka babe ng’abatasanyuka. N’abo abagula ebintu babe ng’abatalina kintu kye bayita kyabwe. 31 (AZ)Era n’abo abakozesa eby’oku nsi kuno bireme okubamalamu ennyo, kubanga ensi eya kaakano eggwaawo.

32 (BA)Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. 33 Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; 34 (BB)aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba. 35 (BC)Bino mbyogera olw’okubagasa, so si kubaziyiza kuwasa na kufumbirwa. Kubanga njagala musobole okuweereza Mukama nga tewali birala bibaziyiza okweweerayo ddala.

36 (BD)Omusajja bw’alowooza nti aba teyeeyisizza bulungi eri omuwala oyo gw’ayogereza bw’atamuwasa, bwe bafumbiriganwa, aba tayonoonye. 37 Naye oyo asobola okwefuga ng’alina omutima omunywevu, n’asalawo awatali kuwalirizibwa nti omuwala tajja kumuwasa, aba asazeewo bulungi. 38 (BE)Kale oyo awasa omuwala gw’ayogereza aba akoze bulungi, naye oyo atamuwasa y’aba asinze okukola obulungi.

39 (BF)Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka. 40 (BG)Naye nze ndowooza nti alina omukisa oyo singa taddayo kufumbirwa. Era ndowooza nga nange nnina Omwoyo wa Katonda.

Ebiweereddwayo eri bakatonda abalala

(BH)Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba. (BI)Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya. (BJ)Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.

(BK)Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala. (BL)Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi. (BM)Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.

(BN)Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka. (BO)Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.

(BP)Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza. 10 Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala. 11 (BQ)Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo! 12 (BR)Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo. 13 (BS)Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.