Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Chronological

Read the Bible in the chronological order in which its stories and events occurred.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Abaggalatiya 4-6

Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. (A)Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. (B)Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we (C)eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. (D)Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” (E)Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Pawulo Alowooza ku Baggalatiya

(F)Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. (G)Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 10 (H)Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 11 (I)neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12 Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 13 (J)era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14 Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15 Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 16 (K)Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17 Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 18 (L)Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 19 (M)Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20 nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Agali ne Saala

21 Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 22 (N)Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 23 (O)Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24 Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25 Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 26 (P)Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 27 (Q)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka
    ggwe omugumba atazaala.
Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka
    newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.
Kubanga ndikuwa abaana bangi,
    abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28 Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 29 (R)Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 30 (S)Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31 Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

Eddembe mu Kristo

(T)Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

(U)Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. (V)Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. (W)Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. (X)Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. (Y)Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

(Z)Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? (AA)Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. (AB)Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 10 (AC)Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 11 (AD)Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12 Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

13 (AE)Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 14 (AF)Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15 Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 16 (AG)Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 17 (AH)Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 18 (AI)Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

19 (AJ)Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20 Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 21 (AK)ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

22 (AL)Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 23 (AM)obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 24 (AN)N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 (AO)Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.

(AP)Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. (AQ)Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. (AR)Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. (AS)Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.

(AT)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. (AU)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. (AV)Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 10 (AW)Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.

Si kukomola wabula abantu abaggya

11 (AX)Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene! 12 (AY)Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 13 (AZ)Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 14 Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze. 15 (BA)Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya. 16 N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.

17 (BB)Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.

18 (BC)Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.