Add parallel Print Page Options

17 (A)Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”

Read full chapter

29 (A)Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi.

Read full chapter

11 (A)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (B)Agamba nti,

“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
    era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”

13 (C)Era awalala agamba nti,

“Nze nnaamwesiganga oyo.”

Ate ne yeeyongera n’agamba nti,

“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”

Read full chapter

17 (A)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu.

Read full chapter