Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 42-45

42 (A)Awo abaduumizi ba magye bonna, ng’ogasseeko Yokanaani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu baatuukirira (B)nnabbi Yeremiya ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, wulira okusaba kwaffe osabe Mukama Katonda wo ku lw’abantu bano bonna abafisseewo. Kale naawe nga bw’olaba, abaali abangi kaakano tusigaddewo batono nnyo. (C)Saba Mukama Katonda wo atubuulire gye tusaanye okulaga ne kye tusaanye okukola.”

(D)Nnabbi Yeremiya n’abagamba nti, “Mbawulidde, ddala nzija kubasabira eri Mukama Katonda wammwe nga bwe munsabye; nzija kubabuulira byonna Mukama by’anaŋŋamba, sirina kye nnaabakisa.”

(E)Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abeere omujulirwa ow’amazima era omwesigwa gye tuli, bwe tutalikola kyonna Mukama Katonda wo ky’anaakutuma okutugamba. (F)Oba kyangu oba kikalubo tujja kugondera Mukama Katonda waffe, gye tukutuma kaakano, tulyoke tufune emirembe, kubanga tujja kugondera Mukama Katonda waffe.”

Bwe waayitawo ennaku kkumi ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya. (G)N’alyoka ayita Yokanaani omwana wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye lya Yuda bonna abaali naye, n’abantu bonna okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu. (H)N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri, gye mwantuma okubabuuliza nti, 10 (I)‘Bwe munaasigala mu nsi eno, nzija kubazimba era siibaleke kugwa. Nzija kubasimba so si kubasimbula, kubanga nnumiddwa olw’ekikangabwa kye mbatuusizzaako. 11 (J)Temutya kabaka w’e Babulooni, kaakano gwe mutya. Temumutya, bw’ayogera Mukama, kubanga ndi nammwe era nzija kubalokola, mbanunule mu mukono gwa kabaka oyo. 12 (K)Nzija kubalaga ekisa alyoke abakwatirwe ekisa, abakomyewo mu nsi yammwe.’

13 (L)“Wabula bwe mugamba nti, ‘Tetuusigale mu nsi eno gye mbakomezzaamu,’ olwo munaaba temugondedde Mukama Katonda wammwe. 14 (M)Bwe mugamba nti, ‘Nedda, tujja kugenda tubeere e Misiri, gye tutaalabe ntalo wadde okuwulira ekkondeere nga livuga oba okubulwa omugaati ogw’okulya,’ 15 kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaasigalawo mu Yuda. Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Bwe munaamalirira okugenda e Misiri era ne mugenda okubeererayo ddala, 16 (N)olwo ekitala kye mutya kijja kubasanga eyo, n’enjala gye mutya ejja kubagoberera e Misiri era eyo gye mulifiira. 17 (O)Mumanyire ddala nti, Abo bonna abamaliridde okugenda e Misiri okusenga eyo balifa kitala, n’enjala ne kawumpuli; tewaliba n’omu alisigalawo wadde okuwona ekikangabwa kye ndibaleetako.’ 18 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’obusungu bwange n’ekiruyi bwe bifukiddwa ku abo abali mu Yerusaalemi, bwe kityo ekiruyi kyange bwe kinaafukibwa ku mmwe bwe munaagenda e Misiri. Munaabeera kya kukolimirwa, era kya ntiisa, era kya kusalirwa musango era kivume: temuliraba kifo kino nate.’

19 (Q)“Mmwe abafisseewo ku Yuda, Mukama abagambye nti, ‘Temugenda Misiri.’ Mumanye kino nga mbalabula leero 20 (R)nti, Mwakola ekisobyo kinene bwe mwantuma eri Mukama Katonda wammwe ne mugamba nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe: tubuulire byonna by’agamba tujja kubikola.’ 21 (S)Mbabuulidde leero, naye era temugondedde Mukama Katonda wammwe mu byonna bye yantuma okubagamba. 22 (T)Kale nno mutegeerere ddala kino nga mulittibwa na kitala, oba njala oba kawumpuli mu nsi gye mwagala okugenda okusengamu.”

43 (U)Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba, (V)Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’ (W)Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”

(X)Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda. (Y)Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda. Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya. (Z)Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.

(AA)Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, “Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba. 10 (AB)Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka. 11 (AC)Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala. 12 (AD)Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko. 13 Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’ ”

44 (AE)Ekigambo ne kijjira Yeremiya ekikwata ku Bayudaaya bonna abaali mu nsi y’e Misiri e Migudooli n’e Tapaneese n’e Noofu ne mu nsi ey’e Pasuloosi nga kigamba nti, (AF)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo (AG)olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako. (AH)Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’ (AI)Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane. Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.

(AJ)“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu? (AK)Lwaki munsunguwaza olw’ebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke eky’omuzizo n’eky’okukolimirwa mu mawanga gonna ag’omu nsi. (AL)Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era n’ebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 10 (AM)Naye n’okutuusa leero tebeetoowazizza wadde okutya, wadde okugondera amateeka gange n’ebiragiro bye nabateekerawo mmwe ne bajjajjammwe.

11 (AN)“Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mmaliridde okubazikiriza mmwe ne Yuda yonna. 12 (AO)Ndiggyawo abaasigalira mu Yuda abaamalirira okugenda e Misiri okusenga eyo. Bonna balizikiririra mu Misiri, balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu asingayo balifa era balifuuka ekyenyinyalwa n’eky’okusekererwa era n’okukolimirwa. 13 (AP)Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi. 14 (AQ)Tewali n’omu ku baasigalawo mu Yuda eyaddukira e Misiri, aliwona oba alisigalawo okudda mu nsi ya Yuda, gye beegomba okudda, tewali aliddayo okuggyako abatono ennyo.”

15 Awo abasajja bonna abaali bamanyi nga bakazi baabwe baali bootereza bakatonda abalala obubaane, n’abakazi abalala abaaliwo, olukuŋŋaana nga lunene n’abantu bonna abaali babeera mu Misiri e Pasuloosi, ne baddamu Yeremiya nga boogera nti, 16 (AR)“Tetujja kuwulira bubaka bw’oyogedde naffe mu linnya lya Mukama! 17 (AS)Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, tuweeyo n’ebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe n’abakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z’e Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi. 18 (AT)Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”

19 (AU)Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa?”

20 Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, abasajja n’abakazi n’abantu bonna abaali bamuzzeemu nti, 21 (AV)“Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, n’abakungu n’abantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira n’alowoozaako? 22 (AW)Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi n’eby’emizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo n’ekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero. 23 (AX)Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”

24 (AY)Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, ng’ogasseeko abakazi nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda, abantu mwenna aba Yuda mu Misiri. 25 (AZ)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’

“Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe! 26 (BA)Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe Abayudaaya mwenna abali mu Misiri. ‘Ndayira mu linnya lyange ekkulu,’ bw’ayogera Mukama nti, ‘Tewali n’omu ku abo abaava mu Yuda ababeera mu Misiri, aliddayo okuyita erinnya lyange wadde okulayira nti, “Nga Mukama Katonda bw’ali omulamu.” 27 (BB)Kubanga mbawaddeyo eri akabi, si lwa bulungi; Abayudaaya abali mu Misiri balimalibwawo n’ekitala n’enjala okutuusa bonna lwe baliggwaawo. 28 (BC)Abo abaliwona ekitala ne baddayo mu Yuda okuva e Misiri baliba batono nnyo. Olwo abalisigalawo bonna okuva mu Yuda abajja okubeera mu Misiri, balitegeera ekigambo ekirikola, ekyange oba ekyabwe.

29 (BD)“ ‘Kano ke kanaabeera akabonero gye muli nti ndibabonerereza mu kifo kino,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mulyoke mumanye nga okulabula kwange okw’okubabonereza kujja kutuukirira.’ 30 (BE)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ŋŋenda kuwaayo Falaawo Kofera kabaka w’e Misiri eri abalabe be abanoonya okumutta, nga bwe n’awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, omulabe eyamunoonya okumutta.’ ”

Obubaka eri Baluki

45 (BF)Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gy’oli, ggwe Baluki nti, (BG)Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’ ” (BH)Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna. (BI)Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.