Add parallel Print Page Options

13 (A)Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:

14 (B)“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
    kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
    kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
15 (C)Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?
    Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
16 (D)Balyesittala emirundi egiwera;
    baligwiragana.
Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo
    eri abantu baffe era n’ensi zaffe,
    tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
17 (E)Eyo gye baliwowogganira nti,
    ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi
    afiiriddwa omukisa gwe.’ 

18 (F)“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
    ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
    nga Kulumeeri ku nnyanja.
19 (G)Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
    mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
    ekiryaawo omutali bantu.

20 (H)“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
    naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
21 (I)N’abajaasi be abapangise
    bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
    tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
    ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
    omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
    ng’abatemi b’emiti.
23 (J)Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
    tebasobola kubalika.
24 (K)Muwala wa Misiri aliswazibwa,
    aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”

25 (L)Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 26 (M)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

19 (A)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (B)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

Read full chapter

13 (A)Ndibonereza abo ababeera mu Misiri, bafe ekitala, n’enjala ne kawumpuli, nga bwe nabonereza Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”

Read full chapter