Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
2 (B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
Ye Kabaka afuga ensi yonna.
3 (C)Yatujeemululira abantu,
n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
4 (D)Yatulondera omugabo gwaffe,
Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4 (C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
5 (D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
6 (E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7 (F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
8 (G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
9 (H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12 (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13 (L)Kubanga Mukama ajja;
ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
n’abantu bonna abalamule mu mazima.
Ebintu Ebiramu n’Ekitiibwa kya Mukama
1 (A)Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwezi ogwokuna ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, bwe nnali nga ndi mu buwaŋŋanguse ku mabbali g’omugga Kebali, eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda. 2 (B)Ku lunaku olwokutaano mu mwezi ogwo, gwe gwali omwaka ogwokutaano ogw’obuwaŋŋanguse bwa kabaka Yekoyakini, 3 (C)ekigambo kya Mukama ne kinzijjira, nze Ezeekyeri kabona, mutabani wa Buuzi, mu nsi ey’Abakaludaaya ku mabbali g’omugga Kebali, n’omukono gwa Mukama gwali ku ye.
4 (D)Awo ne ntunula ne ndaba kibuyaga ng’ava mu bukiikakkono, n’ekire ekikutte ekimyansa ekyamwetooloola, wakati nga wafaanana ng’awali ekyuma ekimasamasa. 5 (E)Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu. 6 (F)Buli kimu kyalina obwenyi buna, n’ebiwaawaatiro bina. 7 (G)Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n’ebigere byabyo nga bifaanana ekigere ky’ennyana, era nga bitangalijja ng’ekikomo ekizigule. 8 (H)Byalina engalo ez’omuntu wansi w’ebiwaawaatiro byabyo ku njuyi zaabyo ennya. Byonna ebina byalina obwenyi n’ebiwaawaatiro, 9 (I)era ebiwaawaatiro byabyo nga bisonga waggulu, buli kiwaawaatiro nga kikoona ku kinnaakyo. Buli kimu kyatambula nga kiraga mu maaso, nga tekikyuse kutunula mabega.
10 (J)Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu. 11 (K)Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo. 12 Buli kimu kyali kitunudde gye kyali kiraga. Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega. 13 (L)Endabika ey’ebiramu ebyo yafaanana ng’omuliro ogwaka ogw’amanda oba omuliro ogw’omumuli. Omuliro gwavanga mu maaso n’emabega, nga gwakaayaakana era nga gumyansa. 14 (M)Ebiramu byetawulanga ng’okumyansa okw’eggulu.
24 (A)Ebiramu bwe byagenda, nawulira okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo, ng’okuwuuma kw’amazzi amangi, ng’eddoboozi lya Ayinzabyonna, ng’oluyoogaano lw’eggye. Bwe byayimirira, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.
25 Awo ne wawulikika eddoboozi okuva waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo, bwe byayimiriranga nga bissizza ebiwaawaatiro byabyo. 26 (B)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (C)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 (D)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.
Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
5 Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 6 (A)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,
“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
7 Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
8 (B)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”
Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 9 (C)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.
10 (D)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 11 (E)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (F)Agamba nti,
“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”
13 (G)Era awalala agamba nti,
“Nze nnaamwesiganga oyo.”
Ate ne yeeyongera n’agamba nti,
“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”
14 (H)Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 (I)Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 (J)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 (K)Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.
Okutumibwa mu Nsi yonna
16 (A)Awo abayigirizwa ekkumi n’omu ne basitula ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabagamba okumusanga. 17 Ne bamusisinkana ne bamusinza. Naye abamu ku bo tebaakakasiza ddala nti ye Yesu, ne babuusabuusa! 18 (B)Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19 (C)Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. 20 (D)Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.