Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 61-62

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
    wulira okusaba kwange.

(B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
    omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
    Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
(C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
    Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

(D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
    ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
(E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
    ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

(F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
    emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
(G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
    Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

(H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
    nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
    oyo obulokozi bwange mwe buva.
(J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
    ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

(K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
    mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
    ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
(L)Bateesa okumuggya
    mu kifo kye ekinywevu,
    basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
    so nga munda bakolima.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
    kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
    ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
(M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
    ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
(N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
    mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
    kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

(O)Abaana b’abantu mukka bukka,
    abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
    n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
    wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
    era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
    kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12     (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

Error: Book name not found: Wis for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abaruumi 12

Ssaddaaka Ennamu

12 (A)Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. (B)So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.

(C)Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. (D)Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. (E)Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. (F)Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, (G)oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; (H)oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.

Okwagala

(I)Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi, 10 (J)nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa, 11 (K)mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, 12 (L)nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba. 13 (M)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.

14 (N)Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga. 15 (O)Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba. 16 (P)Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.

17 (Q)Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna. 18 Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna; 19 abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama. 20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.” 21 Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.

Lukka 8:1-15

Abakazi Abaayitanga ne Yesu

(A)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’agenda ng’akyalira ebibuga ebinene n’ebitono ng’abuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda, n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri nga bali naye. (B)Waaliwo n’abakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu, (C)ne Jowaana muka Kuza eyali omukulu w’olubiri lwa Kerode; ne Susaana, n’abalala bangi, abaatoolanga ku byabwe ne balabirira Yesu n’abayigirizwa be.

Olugero lw’Omusizi

Awo ekibiina kinene bwe kyali kikuŋŋaana, nga n’abantu abava mu buli kibuga bajja eri Yesu, Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Omulimi yagenda mu nnimiro ye okusiga ensigo. Bwe yatandika okusiga ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ne bazirinnyirira, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bizirya. Ensigo endala zaagwa ku lwazi, bwe zaamera ne zikala kubanga tezaalina mazzi. Ensigo endala zaagwa mu maggwa, bwe zaamera n’amaggwa nago ne gakula ne gazizisa. (D)Naye ensigo endala n’azisiga mu ttaka eddungi, ne zikula ne zibala ebibala emirundi kikumi.” N’amaliriza ng’agamba nti, “Alina amatu okuwulira awulire.”

Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’olugero olwo. 10 (E)N’abaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama by’obwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero,

“ ‘bwe batunula baleme kulaba,
    bwe bawulira baleme kutegeera.’

11 (F)“Kale, amakulu g’olugero olwo ge gano: Ensigo ky’ekigambo kya Katonda. 12 Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani n’ajja n’akibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa. 13 (G)Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mmizi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa. 14 (H)Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira n’obugagga n’amasanyu g’omu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi. 15 Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala n’obugumiikiriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.