Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 56-58

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

56 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;
    buli lunaku bannumba n’amaanyi.
(B)Abalabe bange bannondoola,
    bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.

(C)Buli lwe ntya,
    neesiga ggwe.
(D)Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,
    ye Katonda gwe neesiga; siityenga.
    Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

(E)Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;
    ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
(F)Beekobaana ne bateesa,
    banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;
    nga bannindirira banzite.
(G)Tobakkiriza kudduka ne bawona;
    mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.

(H)Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;
    amaziga gange gateeke mu ccupa yo!
    Wagawandiika.
(I)Bwe nkukoowoola,
    abalabe bange nga badduka.
    Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.

10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
    Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.
    Abantu bayinza kunkolako ki?

12 (J)Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;
    ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13 (K)Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
    Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
    mu musana nga ndi mulamu?

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.

57 (L)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
    kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
    okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.

(M)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
    Katonda atuukiriza bye yantegekera.
(N)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
    n’amponya abo abampalana.
    Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.

(O)Mbeera wakati mu mpologoma,
    nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
    Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.

(P)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

(Q)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
    ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
    ate bo bennyini ne babugwamu.

(R)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
    omutima gwange munywevu.
    Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
(S)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
    Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
    ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.

Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
    ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (T)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.

11 (U)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi.

58 (V)Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi?
    Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
(W)Nedda, mutegeka ebitali bya bwenkanya mu mitima gyammwe;
    era bye mukola bireeta obwegugungo mu nsi.

Abakola ebibi bakyama nga baakazaalibwa,
    bava mu lubuto nga balina ekibi, era bakula boogera bya bulimba.
(X)Balina obusagwa ng’obw’omusota;
    bali ng’enswera etawulira ezibikira amatu gaayo;
n’etawulira na luyimba lwa mukugu
    agisendasenda okugikwata.

(Y)Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe;
    owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
(Z)Leka babule ng’amazzi agakulukuta ne gagenda.
    Bwe banaanuula omutego, leka obusaale bwabwe bwe balasa bufufuggale.
(AA)Babe ng’ekkovu erisaanuukira mu lugendo lwalyo.
    Babe ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, ataliraba ku njuba!

(AB)Nga n’entamu tennabuguma,
    alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
10 (AC)Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga,
    olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
11 (AD)Awo abantu bonna balyogera nti,
    “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa.
    Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”

Zabbuli 64-65

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
    okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

(B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
    onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
(C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
    ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
(D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
    amangwago ne bamulasa nga tebatya.

(E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
    ne bateesa okutega emitego mu kyama;
    ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
    “Tukoze enteekateeka empitirivu.”
    Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.

Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
    alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
(F)Ebyo bye boogera biribaddira,
    ne bibazikiriza,
    ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
(G)Olwo abantu bonna ne batya,
    ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
    ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.

10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
    era yeekwekenga mu ye.
    Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

65 (I)Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
    tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
(J)Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
    abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
(K)Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
    n’otutangiririra.
(L)Alina omukisa oyo gw’olonda
    n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo.
Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo;
    eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.

(M)Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna
    abali ewala mu nnyanja zonna,
(N)ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
    n’ozinyweza n’amaanyi go,
(O)ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
    n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo,
    era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
    ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu
    okuva ku makya okutuusa akawungeezi.

(P)Ensi ogirabirira n’ogifukirira
    n’egimuka nnyo.
Emigga gya Katonda gijjudde amazzi,
    okuwa abantu emmere ey’empeke,
    kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
    n’ojjuza ebitaba byamu;
n’ogonza ettaka,
    ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
    ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12 (Q)Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
    n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13 (R)Amalundiro gajjula ebisibo,
    n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke.
    Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.

Error: Book name not found: Wis for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Error: Book name not found: Wis for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abakkolosaayi 3:18-4

18 (A)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (B)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (C)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Ebiragiro Ebirala

Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu. (D)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga (E)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. (F)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. (G)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

(H)Tukiko owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe alibategeeza ebinfaako byonna. (I)Kyenva mmutuma gye muli mulyoke mumanye ebitufaako, era abazzeemu n’amaanyi, (J)awamu ne Onesimo owooluganda omwagalwa era omwesigwa, omu ku b’ewammwe; balibategeeza byonna ebifa eno.

10 (K)Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko omujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako nti bw’aliba ng’aze gye muli mumusembezanga, babatumidde; 11 ne Yesu ayitibwa Yusito abalamusizza. Abo be Bayudaaya, bakozi bannange bokka mu bwakabaka bwa Katonda, abaanzizaamu amaanyi. 12 (L)Epafula ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, afuba bulijjo ku lwammwe okubasabira, mulyoke muyimirirenga nga munywedde mu kukkiriza era nga mutegeereranga ddala mu byonna Katonda by’ayagala, abalamusizza. 13 (M)Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw’afuba ennyo ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli. 14 (N)Lukka, omusawo omwagalwa ne Dema, babalamusizza. 15 (O)Mulamuse abooluganda ab’omu Lawodikiya, ne Nunfa, n’ekkanisa ekuŋŋaanira mu nnyumba ye.

16 (P)Ebbaluwa eno bw’emalanga okusomebwa mu mmwe, mulabe nti esomerwa n’ab’ekkanisa y’omu Lawodikiya, era nammwe musome ebbaluwa eriva e Lawodikiya.

17 (Q)Era mugambe Alukipo nti, “Ssaayo omwoyo ku kuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okutuukirize.”

18 Nze Pawulo nzennyini nze mpandiise okulamusa kuno. Munzijukirenga mu busibe bwange. Ekisa kibeerenga nammwe.

Lukka 7:36-50

Omukazi Alina Ebibi Asiiga Yesu Amafuta ag’Akaloosa

36 Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza. 37 Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa. 38 N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.

39 (A)Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”

40 Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”

41 “Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano. 42 Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?”

43 Simooni n’addamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu n’amugamba nti, “Olamudde bulungi.”

44 (B)N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze. 45 (C)Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde. 46 (D)Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta ag’akaloosa. 47 Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”

48 (E)Awo Yesu n’agamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”

49 Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”

50 (F)Yesu n’agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.