Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 55

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(E)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (K)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
    n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
    ndaajana nga bwe nsinda;
    n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
    nga siriiko kintuseeko
    newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
    aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
    era abatatya Katonda.

20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
    n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
    so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
    so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
    ajja kukuwanirira;
    kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
    olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
    tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.

Zabbuli 138:1-139:23

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.
(K)Ondi mu maaso n’emabega,
    era ontaddeko omukono gwo.
(L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
    era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

(M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
    ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
    emirimu gyo gya kyewuunyo;
    era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
    bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16     Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
    zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
    Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
    bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
    oba okyandowoozaako.

19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
    abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
    bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
    abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
    era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Error: Book name not found: Wis for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abakkolosaayi 3:12-17

12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (A)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (B)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15 (C)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

16 (D)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (E)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

Lukka 7:18-35

Yesu ne Yokaana Omubatiza

18 (A)Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri, 19 n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”

20 Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”

21 (B)Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso. 22 (C)Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge[a] balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri. 23 Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”

24 Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo? 25 Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri. 26 (D)Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi. 27 (E)Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti,

“ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera,
    y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”

28 (F)“Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”

29 (G)Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana. 30 (H)Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.

Yesu Anenya ab’omu Biseera bye

31 Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya? 32 Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti,

“ ‘Bwe twabafuuyira omulere,
    temwazina,
Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga,
    temwakungubaga.’

33 (I)Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’ 34 (J)Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’ 35 Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.