Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 97

97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
    n’embalama eziri ewala zijaguze.
(B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
    obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
(C)Omuliro gumukulembera
    ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
(D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
    ensi n’ekulaba n’ekankana.
(E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
    mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
(F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
    n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.

(G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
    abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
    Mumusinze mwe mwenna bakatonda.

(H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
    n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
    kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
(I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
    ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
    akuuma obulamu bw’abamwesiga,
    n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
    n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
    era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

Zabbuli 99-100

99 (A)Mukama afuga,
    amawanga gakankane;
atuula wakati wa bakerubi,
    ensi ekankane.
(B)Mukama mukulu mu Sayuuni;
    agulumizibwa mu mawanga gonna.
(C)Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.
    Mukama mutukuvu.

(D)Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.
    Onywezezza obwenkanya;
era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya
    era bituufu.
(E)Mumugulumize Mukama Katonda waffe;
    mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.
    Mukama mutukuvu.

(F)Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;
    ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;
baasabanga Mukama
    n’abaanukula.
(G)Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;
    baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.

(H)Ayi Mukama Katonda waffe,
    wabaanukulanga;
n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,
    newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.
Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,
    mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,
    kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

Zabbuli ey’okwebaza.

100 (I)Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
    (J)Muweereze Mukama n’essanyu;
    mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
(K)Mumanye nga Mukama ye Katonda;
    ye yatutonda, tuli babe,
    tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

(L)Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
    ne mu mpya ze n’okutendereza;
    mumwebaze mutendereze erinnya lye.
(M)Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;
    n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

Zabbuli 94-95

94 (A)Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
    ggwe Katonda awalana eggwanga, labika omasemase.
(B)Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
    osasule ab’amalala nga bwe kibagwanidde.
Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
    Omukozi w’ebibi alituusa ddi ng’asanyuka?

(C)Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
    abakola ebibi bonna beepankapanka.
(D)Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
    babonyaabonya ezzadde lyo.
Batta nnamwandu n’omutambuze;
    ne batemula ataliiko kitaawe.
(E)Ne boogera nti, “Katonda talaba;
    Katonda wa Yakobo tafaayo.”

(F)Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
    Mmwe abasirusiru muligeziwala ddi?
(G)Oyo eyatonda okutu tawulira?
    Oyo eyakola eriiso talaba?
10 (H)Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
    Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?
11 (I)Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
    amanyi nga mukka bukka.

12 (J)Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
    gw’oyigiriza eby’omu mateeka go;
13 (K)omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
    okutuusa abakola ebibi lwe balisimirwa ekinnya.
14 (L)Kubanga Mukama talireka bantu be;
    talyabulira zzadde lye.
15 (M)Aliramula mu butuukirivu,
    n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.

16 (N)Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
    Ani alinnwanirira eri abakola ebibi?
17 (O)Singa Mukama teyali mubeezi wange,
    omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.
18 (P)Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
    Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
    okusaasira kwo ne kuzzaamu omwoyo gwange amaanyi.

20 (Q)Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
    obukaabya abantu n’amateeka gaabwe?
21 (R)Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
    atasobezza ne bamusalira ogw’okufa.
22 (S)Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
    ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.
23 (T)Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,
    n’abazikiriza olw’ebyonoono byabwe;
    Mukama Katonda waffe alibamalirawo ddala.
95 (U)Mujje tuyimbire Mukama;
    tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
(V)Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
    tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

(W)Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
    era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
    n’entikko z’ensozi nazo zize.
(X)Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;
    n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

(Y)Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
    tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
(Z)Kubanga ye Katonda waffe,
    naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
    era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
    (AA)“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba[a],
    ne ku lunaku luli e Maasa[b] mu ddungu;
(AB)bajjajjammwe gye bangezesa;
    newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 (AC)Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
    ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
    era tebamanyi makubo gange.’
11 (AD)Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
    ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Olubereberye 31:1-24

Yakobo Ateekateeka Okudda Ewaabwe

31 Awo Yakobo n’awulira nga batabani ba Labbaani bagamba nti, “Yakobo atutte ebyo byonna ebyali ebya kitaffe, era mu byali ebya kitaffe mw’aggye obugagga buno bwonna.” Era Yakobo n’alaba nga Labbaani takyamufaako nga bwe yali olubereberye.

(A)Awo Mukama n’agamba Yakobo nti, “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, mu bantu bo, era nnaabeeranga naawe.” Awo Yakobo kwe kutumya Laakeeri ne Leeya ku ttale gye baalundiranga ekisibo. (B)Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange. (C)Mumanyi bwe naweerea kitammwe n’amaanyi gange gonna. (D)Kyokka ye kitammwe yandyazaamanya n’akyusa empeera yange n’agikendeeza emirundi kkumi; wabula Katonda n’atamukkiriza kundeetako kabi. (E)Kale bwe yagambanga nti, ‘Eza bugondogondo ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza bugondogondo, era bwe yayogeranga nti eza biwuuga ze zinaabanga ezizo ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga.’ (F)Bw’atyo Katonda aggye ku kitammwe ensolo ze n’azimpa.

10 “Mu kiseera ensolo mwe ziwakira, naloota nga nnyimusa amaaso gange nga ndaba embuzi ennume nga zirinyira enkazi eza biwuuga n’eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo. 11 (G)Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 12 (H)N’aŋŋamba nti, ‘Yimusa amaaso go olabe, embuzi zonna ezirinnyira ekisibo bwe ziri eza biwuuga, eza bugondogondo n’eza kiweewoweewo; kubanga ndabye ebyo byonna Labbaani by’akukoze. 13 (I)Nze Katonda w’e Beseri gye wafukira amafuta ku jjinja lye wasimba, gye weeyamira obweyamo. Kale kaakano golokoka ove mu nsi muno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwa.’ ”

14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti, “Ekyo kituufu kubanga tetulina mugabo, mu busika bwa kitaffe. 15 (J)Era atutwala ng’abatali ba mu nnyumba ye. Kubanga yatutunda, era ebyatuvaamu bya badde akozesa. 16 Eby’obugagga byonna Katonda bya muggyeko, bifuuse byaffe n’abaana baffe. Kale kaakano buli Katonda ky’akugambye okukola kikole.”

Yakobo Adduka Okuva ku Labbaani

17 Awo Yakobo n’agolokoka, n’ateeka batabani be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18 (K)n’agoba ente ze zonna, n’ebisolo bye ebirala byonna bye yafuna: obugagga bwe bwonna bwe yafunira mu Padanalaamu, agende mu nsi ya Kanani eri kitaawe Isaaka.

19 (L)Labbaani yali agenze kusala byoya ku ndiga ze, Laakeeri n’abba bakatonda b’omu nnyumba ya Labbaani. 20 (M)Yakobo n’adduka ku Labbaani Omusuuli, era teyamutegeeza nti amuvaako agende. 21 (N)Yadduka ne byonna bye yalina, n’agolokoka n’asomoka omugga Fulaati, n’ayolekera Giriyaadi ensi ey’ensozi.

22 Ku lunaku olwokusatu Labbaani bwe yategeezebwa nti Yakobo yamuddukako, 23 Labbaani n’atwala basajja be, n’awondera Yakobo okumala ennaku musanvu, mu Giriyaadi ensi ey’ensozi. 24 (O)Naye Katonda n’ajjira Labbaani, Omusuuli, mu kirooto, ekiro, n’amugamba nti, “Weegendereze, toyogera na Yakobo kigambo kyonna, ekirungi oba ekibi.”

1 Yokaana 2:1-11

Kristo Omuwolereza Waffe

(A)Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu. (B)Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna. (C)Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera. (D)Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima. (E)Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye. (F)Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.

(G)Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye. (H)Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.

Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza. 10 (I)Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza. 11 (J)Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.

Yokaana 9:18-41

18 (A)Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be, 19 ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”

20 Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso. 21 Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.” 22 (B)Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro. 23 (C)Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”

24 (D)Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”

25 Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”

26 Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”

27 (E)Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28 (F)Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29 (G)Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”

30 Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso. 31 (H)Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala. 32 Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. 33 (I)Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”

34 (J)Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.

Obuzibe bw’Amaaso ag’Omwoyo

35 Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”

36 (K)Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”

37 (L)Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”

38 (M)Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.

39 (N)Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”

40 (O)Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”

41 (P)Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.