Book of Common Prayer
118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3 N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5 (C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 (D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 (E)Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
8 (F)Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9 (G)Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Okulabula Eri Abanyooma Amagezi
20 (A)Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 (B)Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 (C)Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 (D)kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 (E)kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 (F)Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 (G)Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 (H)Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 (I)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (J)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
ng’agumye nga talina kutya kwonna.
Omukwano ne Katonda nga guyita mu Kristo
11 (A)Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. 12 (B)Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. 13 (C)Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. 14 (D)Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. 15 (E)Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, 16 (F)okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. 17 (G)Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. 18 (H)Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. 19 (I)Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. 20 (J)Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. 21 (K)Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
Okusaba kwa Yakobo ne Yokaana
35 Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
36 N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”
37 (A)Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”
38 (B)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
39 (C)Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange. 40 Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
41 Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo. 42 Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu, 43 (D)naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne. 44 Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna. 45 (E)N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.