Book of Common Prayer
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
omponye abantu abakambwe;
2 (B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
abanoonya entalo buli kiseera.
3 (C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4 (D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
omponye abantu abakambwe
abateesa okunkyamya.
5 (E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
banjuluzza ekitimba kyabwe;
ne batega emitego mu kkubo lyange.
6 (F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
7 (G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
ggwe engabo yange mu lutalo.
8 (H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.
142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
neegayirira Mukama ansaasire.
2 (B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3 (C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4 (D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5 (E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
Zabbuli Ya Dawudi.
141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2 (B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3 Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
era bwe njogera onkomeko.
4 (C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
wadde okulya ku mmere yaabwe.
5 (D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6 Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7 (E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
Zabbuli Ya Dawudi.
143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 (B)Tonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3 Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 (C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 (D)Nzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 (E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7 (F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 (G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 (H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
Amagezi Gakoowoola
8 (A)Amagezi tegakoowoolera waggulu,
n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2 Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 (B)ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4 Mmwe abantu, mmwe b’empita;
nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
5 (C)Mmwe abatategeera mufune okutegeera;
nammwe abasirusiru mufune amagezi.
6 Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
7 (D)Akamwa kange koogera bituufu byereere;
kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
8 Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
9 Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 (E)Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 (F)kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 (G)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (H)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
nkyawa amalala n’okwemanya,
n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (I)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
ntegeera era ndi wa buyinza.
15 (J)Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange,
n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 (K)Njagala abo abanjagala,
n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 (L)Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 (M)Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
mu kkubo ery’obwenkanya,
21 (N)n’abo abanjagala mbagaggawaza
era nzijuza amawanika gaabwe.
1 (A)Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa, 2 (B)ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.
3 Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
Okusaba n’okwebaza
4 (C)Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda, 5 (D)kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna. 6 Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo. 7 (E)Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.
Pawulo yeegayiririra Onesimo
8 Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola, 9 (F)naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu; 10 (G)nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe, 11 Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi, 12 gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako, 13 oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira, 14 (H)naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira. 15 Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, 16 (I)nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.
17 (J)Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize. 18 Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko. 19 Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange. 20 (K)Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo. 21 (L)Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo! 22 (M)Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.
Okusiibula
23 (N)Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.
24 (O)Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.
25 (P)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.
Olukwe olw’Okutta Laazaalo
9 (A)Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza. 10 Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo, 11 (B)kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
Yesu Ayingira mu Yerusaalemi n’Ekitiibwa
12 Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi, 13 (C)ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti,
“Ozaana.”
“Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.”
“Ye Kabaka wa Isirayiri.”
14 Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,
15 (D)“Ggwe muwala wa Sayuuni totya;
laba Kabaka wo ajja,
nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”
16 (E)Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17 (F)Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18 (G)Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 19 (H)Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.