Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2 (D)Nga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4 Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 (E)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6 (F)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7 (G)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8 (H)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9 (I)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11 (J)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (K)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13 (L)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (M)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (N)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (O)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
17 (P)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (Q)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
133 (R)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 (S)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 (T)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
134 (U)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 (V)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (Y)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (Z)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (AA)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (AB)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (AC)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (AD)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (AE)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (AF)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (AG)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (AH)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (AI)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (AJ)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (AK)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (AL)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi
7 (A)Mutabani nyweeza ebigambo byange,
era okuumenga ebiragiro byange.
2 (B)Kwata ebiragiro byange obeere mulamu,
n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
3 (C)togalekanga kuva mu ngalo zo,
gawandiike ku mutima gwo.
4 Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
5 (D)Binaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
6 Lumu nnali nnyimiridde
ku ddirisa ly’ennyumba yange.
7 (E)Ne ndaba mu bavubuka abatoototo,
omulenzi atalina magezi,
8 ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
9 (F)olw’eggulo ng’obudde buzibye,
ekizikiza nga kikutte.
10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 (G)Omukazi omukalukalu,
atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 (H)wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
mu buli kafo konna ng’ateega!
13 (I)N’amuvumbagira, n’amunywegera
era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
14 (J)“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
leero ntukiriza obweyamo bwange.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana,
mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi
n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 (K)Mbukubye n’akaloosa,
n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 (L)Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19 Kubanga baze taliiyo eka;
yatambula olugendo luwanvu:
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
21 (M)Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 (N)Amangwago omuvubuka n’amugoberera
ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23 (O)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
24 (P)Kaakano nno batabani bange mumpulirize,
era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 (Q)Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26 Kubanga bangi bazikiridde,
ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 (R)Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
nga likka mu bisenge eby’okufa.
Okumaliriza
13 (A)Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. 14 (B)Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. 15 (C)Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.
16 (D)Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa. 17 (E)Buli ekitali kya butuukirivu kibi, naye waliwo ekibi ekitaleetera muntu kufa.
18 (F)Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi. 19 (G)Tumanyi nga tuli ba Katonda, n’ensi yonna eri mu mikono gya Setaani. 20 (H)Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.
21 Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.
55 (A)Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka. 56 (B)Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?” 57 Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.
Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya
12 (C)Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 2 (D)Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 3 (E)Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
4 (F)Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5 “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6 (G)Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 (H)Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8 (I)Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.