Book of Common Prayer
105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 (B)Mumuyimbire, mumutendereze;
muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 (C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
5 (D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 (E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe;
ye alamula mu nsi yonna.
8 (F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 (G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
okuba omugabo gwo.”
12 (J)Bwe baali bakyali batono,
nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
era bagonderenga ebiragiro bye.
Mumutendereze Mukama.
3 (A)Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri[a] mu nsi ya Edomu. 4 N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, 5 (B)alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”
6 (C)Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” 7 (D)Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, 8 ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”
9 (E)Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 10 (F)sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 11 (G)Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 12 (H)Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”
Ekirabo kya Yakobo eri Esawu
13 (I)N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14 embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15 eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16 N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”
17 N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 18 (J)N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19 Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 20 (K)era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21 Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.
Omulabe wa Kristo
18 (A)Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse. 19 (B)Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.
20 (C)Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna. 21 (D)Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima. 22 (E)Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. 23 (F)Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.
24 (G)Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe. 25 Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.
26 (H)Mbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba. 27 (I)Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
28 (J)Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.
29 (K)Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.
19 (A)Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 (B)Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 (C)Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
22 Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 (D)Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 24 (E)Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
25 (F)Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 26 (G)Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 (H)Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 28 (I)Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 29 (J)kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 30 (K)Nze ne Kitange tuli omu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.