Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 45

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.

45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
    nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
    Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.

(A)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
    n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
    Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.

(B)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
    yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
(C)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
    afuge amawanga.
(D)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
(E)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
(F)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
    Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
    mu mbiri zo ez’amasanga.
(G)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
    namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.

10 (H)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (I)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (J)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (K)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (L)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (M)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Zabbuli 47-48

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

47 (A)Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna;
    muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu;
(B)Mukama Ali Waggulu Ennyo wa ntiisa.
    Ye Kabaka afuga ensi yonna.
(C)Yatujeemululira abantu,
    n’atujeemululira amawanga ne tugafuga.
(D)Yatulondera omugabo gwaffe,
    Yakobo gw’ayagala mwe yeenyumiririza.

(E)Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi.
    Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
(F)Mutendereze Katonda, mumutendereze.
    Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze.[a]
(G)Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna,
    mumutendereze ne Zabbuli ey’ettendo.

(H)Katonda afuga amawanga gonna;
    afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.
(I)Abakungu bannaggwanga bakuŋŋanye
    ng’abantu ba Katonda wa Ibulayimu;
kubanga Katonda y’afuga abakulembeze b’ensi.
    Katonda agulumizibwenga nnyo.

Oluyimba. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

48 (J)Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo
    mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.

(K)Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu,
    olusanyusa ensi yonna.
Ku ntikko Zafoni kwe kuli
    ekibuga kya Kabaka Omukulu;
(L)Katonda mw’abeera;
    yeeraze okuba ekigo kye.

(M)Kale laba, bakabaka b’ensi baakuŋŋaana
    ne bakyolekera bakirumbe;
(N)bwe baakituukako ne bakyewuunya,
    ne batya nnyo ne badduka;
nga bakankana,
    ne bajjula obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala.
(O)Wabazikiriza ng’omuyaga ogw’ebuvanjuba
    bwe guzikiriza ebyombo by’e Talusiisi.

(P)Ebyo bye twawuliranga obuwulizi,
    kaakano tubirabye
mu kibuga kya Mukama ow’Eggye,
    mu kibuga kya Katonda waffe,
    kyalinywereza ddala emirembe gyonna.

(Q)Ayi Katonda, tufumiitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo
    nga tuli mu Yeekaalu yo.
10 (R)Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda,
    bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna.
    Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
11 (S)Sanyuka gwe Sayuuni,
    musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda;
    kubanga Katonda alamula bya nsonga.

12 Mutambule mu Sayuuni, mukibune;
    mubale n’ebigo byakyo.
13 (T)Mwekalirize nnyo munda wa bbugwe waakyo
    n’olusiisira lw’amaggye lwamu lwonna;
    mulyoke mutegeeze ab’emirembe egiriddawo.

14 (U)Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna;
    y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.

1 Samwiri 25:1-22

Dawudi, Nabali ne Abbigayiri

25 (A)Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumukungubagira. Ne bamuziika ewuwe e Laama.

Awo Dawudi n’avaayo n’aserengeta mu ddungu Palani. (B)Mu biro ebyo waaliwo omusajja omugagga ennyo mu Mawoni eyalina eby’obugagga e Kalumeeri. Yalina endiga enkumi ssatu n’embuzi lukumi. Byali biseera bya kusala byoya eby’endiga ze, e Kalumeeri. (C)Erinnya ly’omusajja ye yali Nabali, ne mukyala we nga ye Abbigayiri. Yali mukyala mutegeevu era nga mulungi, nga bw’omutunuulira alabika bulungi, naye bba Omukalebu, nga wa kkabyo kyokka nga mukalabakalaba mu mirimu gye.

Nabali yali ng’asala ebyoya by’endiga ze, Dawudi n’akiwulira. Dawudi n’atuma abavubuka kkumi, n’abagamba nti, “Mwambuke e Kalumeeri eri Nabali mumulamuse mu linnya lyange. (D)Mumugambe nti, Emirembe gibeere ku ggwe n’ennyumba yo, ne ku bintu byo byonna.

(E)“Mpulira nti ekiseera eky’okusala ebyoya by’endiga kituuse. Abasumba bo bwe baabeeranga awamu naffe, tetwabayisanga bubi, era n’ebbanga lyonna lye baamala e Kalumeeri tewali na kimu ku bintu byabwe ekyabula. (F)Buuza abaweereza bo, be bajulirwa. Noolwekyo abavubuka bange balabe ekisa mu maaso go kubanga bazze mu kiseera eky’okukwatiramu embaga. Nkusaba obawe kyonna ky’olinawo, oweerezeeko ne mutabani wo Dawudi.”

Awo abasajja ba Dawudi bwe baatuuka, ne bawa Nabali obubaka obwo mu linnya lya Dawudi, ne balindirira. 10 (G)Nabali n’addamu abaweereza ba Dawudi nti, “Dawudi oyo ye ani? Mutabani wa Yese oyo ye ani? Ennaku zino abaweereza bangi badduka ku bakama baabwe. 11 (H)Nnyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?”

12 Awo abasajja ba Dawudi ne bakyuka ne baddayo ne bamutegeeza buli kigambo nga bwe bategeezebbwa. 13 (I)Dawudi n’agamba abasajja be nti, “Mwesibe buli muntu ekitala kye!” Buli omu ku bo ne yeesiba ekitala kye, ne Dawudi ne yeesiba ekikye, abasajja nga bikumi bina ne bayambuka ne Dawudi, ebikumi bibiri ne basigala nga bakuuma eby’okukozesa.

14 (J)Omu ku baddu ba Nabali n’agamba Abbigayiri mukyala wa Nabali nti, “Dawudi yatuma ababaka ng’ali mu ddungu okulamusa mukama waffe naye n’abavuma; 15 (K)ate nga abasajja abo baali ba kisa nnyo gye tuli, era tebalina kabi ke baatukola newaakubadde okubuza ekintu n’ekimu ku bintu byaffe bwe twali mu ddungu nabo. 16 (L)Baaberanga ng’ekisenge okutwetooloola emisana n’ekiro, ekiseera kyonna kye twamala nabo nga tulunda endiga. 17 (M)Kaakano kifumiitirizeeko, olabe ky’oyinza okukola, kubanga akabi kajjidde mukama waffe n’ennyumba ye yonna. Musajja atabuulirirwa.”

18 (N)Awo amangwago Abbigayiri n’ayanguwa n’addira emigaati ebikumi bibiri, n’ebita bibiri ebya wayini, n’ennyama ey’endiga ttaano ennongoose obulungi, n’ebigero bitaano eby’eŋŋaano ensiike, n’ebitole kikumi eby’ezabbibu enkalu, n’ebitole ebikumi bibiri eby’ettiini, n’abiteeka ku ndogoyi. 19 (O)N’agamba abaweereza be nti, “Munkulemberemu, nange nzija.” Naye n’atabuulirako bba Nabali.

20 Awo bwe yali yeebagadde endogoyi ye, n’ayita kumpi n’olusozi nga lumukweka. N’asisinkana Dawudi n’abasajja be nabo nga baserengeta okumwolekera. 21 (P)Dawudi yali yakamala okwogera nti, “Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja ono bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bw’atyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi. 22 (Q)Kale Katonda akole bw’atyo abalabe ba Dawudi n’okukirawo, enkeera bwe wanaabaawo omusajja we n’omu anaasigala nga mulamu.”

Ebikolwa by’Abatume 14:1-18

14 (A)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baatuuka mu Ikoniya ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. Ne babuulira n’amaanyi mangi era abantu bangi Abayudaaya n’Abayonaani ne bakkiriza. Naye Abayudaaya abaagaana okukkiriza ne bassa omutima omubi mu baamawanga okukyawa abooluganda. (B)Ne baabeerayo ebbanga gwanvu nga babuulira n’obuvumu, era Mukama n’akakasanga ekigambo ky’ekisa kye ng’abawa okukola obubonero n’ebyamagero. (C)Naye ekibiina ky’abantu mu kibuga ne kyawukanamu abamu ne bagoberera Abayudaaya n’abalala ne bakkiriza abatume. (D)Abayudaaya n’abakulembeze baabwe awamu n’Abamawanga, ne basala olukwe okubonyaabonya abatume, n’okubakuba amayinja. (E)Naye Pawulo ne Balunabba olukwe ne baluggukamu ne baddukira mu bibuga ebya Lukawoniya ne Lusitula ne Derube, ne mu bitundu ebiriraanyeewo, (F)era n’eyo ne babuulirirayo Enjiri.

Pawulo ne Balunabba mu Lusitula ne Derube

(G)Mu Lusitula mwalimu omusajja eyazaalibwa nga mulema, ng’ebigere bye bigongobavu, nga tatambulangako. (H)N’atuula awo ng’awuliriza Pawulo bye yali ayogera. Pawulo n’amwekaliriza amaaso n’alaba ng’alina okukkiriza okuwonyezebwa. 10 (I)Pawulo n’amugamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yimirira ku bigere byo, weegolole!” Amangwago omusajja n’ayimirira, n’atandika okutambula! 11 (J)Awo ekibiina ky’abantu bwe baalaba Pawulo ky’akoze, ne baleekaanira waggulu mu lulimi lwabwe Olulikaoniya nti, “Bakatonda basse wansi gye tuli nga bali mu kifaananyi ky’abantu!” 12 Balunabba ne bamuyita Zewu, Pawulo ne bamuyita Kerume kubanga ye yali omwogezi omukulu. 13 Awo kabona wa Zewu, eyali ebweru w’ekibuga, n’agenda n’aleeta ente ennume n’ebimuli ku wankaaki, ye n’ekibiina ky’abantu ne baagala okuwaayo ssaddaaka.

14 (K)Naye abatume, Balunabba ne Pawulo, bwe baabiwulira, ne bayuza engoye zaabwe, ne bafubutuka ne bayingira mu kibiina ky’abantu nga baleekaana nga bagamba nti, 15 (L)“Abasajja! Kiki ekibakozesa ebintu bino? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe! Twazze tubabuulire mukyuke okuva ku bintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu eyakola eggulu n’ensi, n’ennyanja n’ebintu byonna ebirimu. 16 (M)Mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okukwata amakubo ge baayagalanga. 17 (N)Kyokka tasigalirangako awo nga talina bujulirwa ng’abakolera ebirungi okuva mu ggulu, ng’aweereza enkuba, n’okubawa ebiro eby’okubalizangamu ebibala n’okubakkusa emmere, era n’okubajjuza essanyu mu mitima gyabwe.” 18 Newaakubadde baabategeeza bwe batyo, naye era katono balemwe okuziyiza ebibiina okubawa ssaddaaka.

Makko 4:21-34

21 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (B)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (C)Alina amatu agawulira awulire. 24 (D)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (E)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”

Olugero lw’Ensigo Ekula

26 (F)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (G)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”

30 (H)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”

33 (I)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (J)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.