Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146-147

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!
147 (K)Mutendereze Mukama!

Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
    kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.

(L)Mukama azimba Yerusaalemi;
    era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
(M)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.
(N)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
    n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
(O)Mukama awanirira abawombeefu,
    naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.

(P)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
    mumukubire entongooli ezivuga obulungi.

(Q)Mukama abikka eggulu n’ebire,
    ensi agitonnyeseza enkuba,
    n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
(R)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.

10 (S)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
    wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
    era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.

12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
    tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
    n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (T)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
    n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.

15 (U)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
    ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (V)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
    n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
    bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (W)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
    n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (X)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
    Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (Y)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
    amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.

Mutendereze Mukama!

Zabbuli 111-113

111 Mutendereze Mukama!

Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
    mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.

(A)Mukama by’akola bikulu;
    bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
    n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
(B)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
    Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
(C)Agabira abamutya emmere;
    era ajjukira endagaano ye buli kiseera.

Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
    n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
(D)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
    n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
(E)manywevu emirembe gyonna;
    era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
(F)Yanunula abantu be;
    n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
    Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!

10 (G)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
    era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
    Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
112 (H)Mutendereze Mukama![a]

Alina omukisa omuntu atya Katonda,
    era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
    omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
    era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
(I)Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
    alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
(J)Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
    era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
(K)Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
    era anajjukirwanga ennaku zonna.
(L)Amawulire amabi tegaamutiisenga,
    kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
(M)Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
    era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
(N)Agabidde abaavu bye beetaaga;
    mutuukirivu ebbanga lyonna;
    era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10 (O)Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
    n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
    Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.
113 (P)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(Q)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(R)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(S)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(T)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(U)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(V)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(W)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(X)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

1 Samwiri 14:36-45

36 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro kino tubanyage okutuusa emmambya lw’eneesala, era tuleme okulekawo wadde omu ku bo nga mulamu.” Ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’osiima.”

Naye kabona n’ayogera nti, “Twebuuze ku Katonda wano.” 37 (A)Awo Sawulo ne yeebuuza ku Katonda ng’agamba nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwa Isirayiri?” Naye Katonda n’atamuddamu ku olwo.

38 (B)Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mujje wano mmwe mwenna abakulembeze b’abantu, tunoonyereze tulabe ekibi ekikoleddwa leero. 39 (C)Nga Mukama alokola Isirayiri bw’ali omulamu, ne bwe kinaaba ku mutabani wange Yonasaani, ateekwa kufa.” Naye ne wataba n’omu amwanukula.

40 Awo Sawulo n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Muyimirire ku ludda olwo, nze ne mutabani wange Yonasaani tunaayimirira ku ludda luno.” Abantu ne bamuddamu nti, “Kola nga bw’onoosiima.”

41 Sawulo n’asaba Mukama Katonda wa Isirayiri nti, “Kiki ekikugaanye okuddamu omuweereza wo leero? Omusango bwe guba nga guli ku nze oba ku mutabani wange Yonasaani ddamu ne Wumimu, naye bwe guba nga guli ku bantu bo Isirayiri, onaddamu ne Sumimu.” Awo akalulu ne kakubibwa era ne kagwa ku Sawulo ne Yonasaani mutabani we. 42 Awo Sawulo n’ayogera nti, “Mutukubire akalulu nze ne mutabani wange Yonasaani.” Yonasaani n’alondebwa.

43 (D)Sawulo n’abuuza Yonasaani nti, “Mbulira ky’okoze.” Yonasaani n’amutegeeza nti, “Nakombyeko katono ku mubisi gw’enjuki nga nkozesa omusa gw’omuggo gwange. Kaakano ekyo kinsanyiza okufa?” 44 (E)Sawulo n’amuddamu nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okukirawo bw’otoofe, Yonasaani!” 45 (F)Naye abantu ne bagamba Sawulo nti, “Lwaki, Yonasaani akoze eby’amagero ebyo byonna mu Isirayiri afa? Ddala Yonasaani attibwe? Oyo aleetedde Isirayiri obununuzi obw’ekitalo? Nedda tekisoboka! Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.” Abantu ne banunula Yonasaani bwe batyo, n’atattibwa.

Abaruumi 5:1-11

Emirembe n’essanyu

(A)Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, (B)era olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. (C)Tetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. (D)Era essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

(E)Bwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. (F)Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

(G)Kale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 10 (H)Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11 So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Matayo 22:1-14

Olugero olw’Embaga ey’Obugole

22 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. (B)N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja.

(C)“Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’

“Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. (D)Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe.

“Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. (E)Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 (F)Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi.

11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 (G)Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu.

13 (H)“Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’

14 (I)“Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.