Book of Common Prayer
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.
30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
kubanga wannyimusa;
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 (B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
n’omponya.
3 (C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
n’omponya ekinnya.
4 (D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 (E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
essanyu ne lijja nga bukedde.
6 Bwe namala okunywera
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 (F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
ne neeraliikirira.
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 (G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
Ayi Mukama, onnyambe.”
Zabbuli ya Dawudi.
32 (A)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (B)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (D)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (I)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
EKITABO II
Zabbuli 42–72
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 (B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 (C)Nkaabirira Mukama
emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 (D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 (E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
ye mubeezi wange.
6 Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
7 (F)Obuziba bukoowoola obuziba,
olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
bimpiseeko.
8 (G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
ne muyimbira oluyimba lwe;
y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 (H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
“Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
“Katonda wo ali ludda wa?”
11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
Dawudi ng’ali Adulamu n’e Mizupe
22 (A)Dawudi n’ava e Gaasi, n’addukira mu mpuku Adulamu. Baganda be n’ennyumba ya kitaawe bwe baakiwulira nti ali eyo, ne baserengeta okumusisinkana. 2 (B)N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋaanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.
3 Dawudi n’avaayo n’agenda e Mizupe mu Mowaabu, n’agamba kabaka wa Mowaabu[a] nti, “Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere naawe okutuusa bwe ndimanya Katonda ky’ayagala okunkolera.” 4 N’abaleka ne kabaka wa Mowaabu, ne babeera naye ebbanga lyonna Dawudi lye yabeera mu kifo ekyo.
5 (C)Naye nnabbi Gaadi n’alabula Dawudi nti, “Tobeera mu kifo ekyo, vaamu ogende mu nsi ya Yuda.” Awo Dawudi n’avaayo n’agenda mu kibira Keresi.
Sawulo Atta Bakabona b’e Nobu
6 (D)Sawulo n’awulira nti Dawudi n’abasajja be bazuuliddwa. Sawulo yali atudde wansi w’omumyulimu ku kasozi e Gibea ng’akutte effumu, nga n’abaserikale be bayimiridde okumwetooloola. 7 (E)Awo Sawulo n’abagamba nti, “Mumpulirize mmwe Ababenyamini. Mutabani wa Yese alibawa ennimiro n’ennimiro ez’emizabbibu? Mulowooza alibafuula abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ekikumi? 8 (F)Kyemuvudde mundyamu olukwe mwenna? Tewali n’omu ku mmwe eyantegeeza mutabani wange ng’akola endagaano ne mutabani wa Yese. Tewali n’omu ku mmwe afaayo okuntegeeza nga mutabani wange awagira omuweereza wange okunteega, nga bw’akoze leero.”
9 (G)Naye Dowegi Omwedomu eyali ayimiridde awamu n’abaserikale ba Sawulo n’ayogera nti, “Nalaba mutabani wa Yese ng’agenda eri Akimereki mutabani wa Akitubu e Nobu. 10 (H)Akimereki yamubuuliza eri Mukama, era n’amuwa n’ebikozesebwa n’ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti.”
11 Awo kabaka n’atumya kabona Akimereki mutabani wa Akitubu n’ennyumba ya kitaawe yonna, bakabona abaali e Nobu, bonna ne bajja eri kabaka. 12 Sawulo n’ayogera nti, “Wuliriza kaakano, mutabani wa Akitubu.”
N’addamu nti, “Mpuliriza mukama wange.”
13 (I)Sawulo n’amubuuza nti, “Lwaki weekobaana ne mutabani wa Yese, n’omuwa emigaati n’ekitala, n’omubuuliza n’eri Katonda, alyoke, anteege angolokokereko, nga bw’akoze leero?”
14 (J)Awo Akimereki n’addamu kabaka nti, “Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo? 15 Olowooza nti ku lunaku olwo gwe gwali omulundi ogusooka okumubuuliza eri Katonda? Nedda! Kabaka aleme okuvunaana omuweereza wo newaakubadde omuntu yenna ow’omu nnyumba ya kitange, kubanga omuweereza wo talina n’ekimu ky’amanyi ku nsonga eyo.”
16 Naye kabaka n’ayogera nti, “Mazima tooleme kufa, ggwe Akimereki, n’ennyumba ya kitaawo yonna.”
17 (K)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”
Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
18 (L)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (M)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
20 (N)Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi. 21 Abiyasaali n’ategeeza Dawudi nga Sawulo bwe yali asse bakabona ba Mukama. 22 (O)Awo Dawudi n’agamba Abiyasaali nti, “Namanya ku lunaku olwo, Dowegi Omwedomu bwe yaliiyo, nga ddala alibuulira Sawulo. Omusango gwange kubanga nze naleetera ennyumba ya kitaawo yonna okuttibwa. 23 (P)Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.”
26 (A)“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 27 (B)Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 28 (C)Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 29 (D)Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 30 (E)Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 31 (F)Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.
32 “Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33 yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,
“ ‘Mwana wange,
leero nfuuse Kitaawo.’
34 (G)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
35 (H)Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,
“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’
36 (I)“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37 Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 (J)“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 39 (K)Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40 Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:
41 (L)“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,
musamaalirire era muzikirire!
Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,
gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu
ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”
42 (M)Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 43 (N)Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.
19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
Yesu ne Beeruzebuli
20 (A)Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 21 (B)Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 22 (C)Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”
23 (D)Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 27 (E)Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 29 (F)Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”
30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”
Baganda ba Yesu ne Nnyina
31 (G)Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”
33 Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”
34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.