Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
97 (A)Mukama afuga; ensi esanyuke,
n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 (B)Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;
obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 (C)Omuliro gumukulembera
ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 (D)Okumyansa kwe kumulisa ensi;
ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 (E)Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,
mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 (F)Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;
n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 (G)Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,
abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.
Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 (H)Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 (I)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;
ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 (J)Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,
akuuma obulamu bw’abamwesiga,
n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 (K)Omusana gwe gwakira abatuukirivu,
n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 (L)Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,
era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.
Musa Atunuulira Ekitiibwa kya Mukama
12 (A)Musa n’agamba Mukama nti, “Obadde ontegeeza nti, ‘Kulembera abantu bano,’ naye omuntu gw’onontuma naye tomuntegeezezza. Ogambye nti, ‘Nkumanyi awamu n’erinnya lyo, era onsanyusizza.’ 13 (B)Obanga nkusanyusizza, njigiriza amakubo go ndyoke nkumanye era nneeyongeranga okukusanyusa. Jjukira nti eggwanga lino be bantu bo.”
14 (C)Mukama n’addamu nti, “Nnaagendanga naawe, era nnaakuwummuzanga.”
15 Musa n’amugamba nti, “Obanga toogende naffe, totuggya wano. 16 (D)Kale abantu balitegeerera ku ki nga Nkusanyusizza, nze n’abantu bo? Si lwa kubanga onooba ogenze naffe, ne tuba ba njawulo, nze n’abantu bo, nga twawukana ku bantu bonna ab’oku nsi?”
17 Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kukola ekyo kyennyini ky’osabye; onsanyusizza, era nkumanyi awamu n’erinnya lyo.”
6 (A)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
Okujja kwa Yesu
7 (B)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”
8 (C)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; 9 (D)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.