Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
20 (A)N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti, 21 (B)“Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”
22 (C)Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri. 23 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, 24 (D)bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. 25 (E)Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’ 26 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, 27 (F)“Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde. 28 (G)Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ”
Ne bazaayo obubaka eri kabaka.
29 Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 30 (H)N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama. 31 (I)Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.
32 Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.
33 (J)Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
25 (A)Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri. 26 Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi. 27 (B)Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo. 28 Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,
29 (C)“Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe,
ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 (D)Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31 bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 (E)okuba Omusana ogw’okwakira amawanga.
N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”
33 Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu. 34 (F)Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. 35 Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”
36 (G)Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa, 37 (H)n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro. 38 (I)Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.