Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (G)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
27 (A)N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’
16 (A)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (B)nga bagamba nti,
“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
Era ofuga.
18 (C)Amawanga gaakunyiigira,
naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo
era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,
n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,
n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo
abakulu n’abato,
n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
19 (D)Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.