Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
9 (A)Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” 10 (B)Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
11 (C)Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, 12 n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 (D)Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. 14 (E)Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 15 (F)Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (A)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (B)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (C)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
10 (A)N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
22 (A)Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 23 (B)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (C)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (D)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26 Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 27 (E)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Omugga ogw’Obulamu
22 (F)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, 2 (G)nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. 3 (H)Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, 4 (I)era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. 5 (J)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.
23 (A)Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye. 24 (B)Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma. 25 Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe. 26 (C)Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba. 27 (D)Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
28 (E)“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa. 29 (F)Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize.
Yesu Awonyeza ku Kidiba
5 Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya. 2 (A)Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola. 3 Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye. 4 Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa. 5 Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana. 6 Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 (B)Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” 9 (C)Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira.
Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.