Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
2 (B)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.
3 (C)Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,
oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,
4 (D)naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;
era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,
era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.
5 (E)Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6 (F)Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;
era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;
era omwana omuto yalizirabirira.
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
abaana baazo banaagalamiranga wamu.
Empologoma erirya omuddo ng’ente.
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.
9 (G)Tewalibeera kukolaganako bulabe
wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.
Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,
ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.
10 (H)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
4 (A)Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
5 (B)Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, 6 (C)mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.
7 (D)Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 8 (E)Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 9 (F)n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,
“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,
era ne ntendereza erinnya lyo.”
10 (G)Era n’ayongera n’agamba nti:
“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”
11 (H)Era nate nti,
“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,
era abantu bonna bamutenderezenga.”
12 (I)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,
“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
13 (J)Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
Yokaana Omubatiza Aluŋŋamya Ekkubo lya Mukama
3 (A)Mu nnaku ezo Yokaana Omubatiza n’ajja ng’abuulira mu ddungu ly’e Buyudaaya ng’agamba nti, 2 (B)“Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.” 3 (C)Oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako ng’agamba nti,
“Mpulira eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu ng’agamba nti,
‘Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
muluŋŋamye amakubo ge!’ ”
4 (D)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki. 5 Abantu bangi ne bava mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna ne mu bifo ebiriraanye Yoludaani ne bajja mu ddungu okuwulira by’abuulira. 6 N’ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7 (E)Naye bwe yalaba Abafalisaayo bangi n’Abasaddukaayo nga bajja okubatizibwa n’abagamba nti, “Mmwe, abaana b’essalambwa, ani yabalabula okudduka obusungu bwa Katonda obugenda okujja? 8 (F)Kale mubale ebibala ebiraga nti Mwenenyeza. 9 Temulowooza mu mitima gyammwe nti, ‘Tuli bulungi kubanga tuli Bayudaaya, abaana ba Ibulayimu, tetufaayo, tetulina kye twetaaga.’ Ekyo tekibasigula. Mbategeeza nti, Katonda ayinza okufuula amayinja gano abaana ba Ibulayimu! 10 (G)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.
11 (H)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (I)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.