); Isaiah 49:13-23 (God comforts the suffering); Matthew 18:1-14 (Become like a child) (Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya)
Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (G)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
13 (A)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
Muyimbe mmwe ensozi!
Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”
15 (B)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 (C)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (D)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (E)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 (F)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 (G)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (H)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa
22 (I)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (J)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Olugero lw’Endiga Eyabula
10 (H)“Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula[a].
12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.